Ekitundu ky'eby'enneeyisa.
okwanukula: 1
kubanga nsonga eviraako okwagalibwa Allah omugulumivu.
Mu hadiithi: «Omuddu wa Allah asinga okwagalwa eri Allah, yagamba: abasinga empisa ennungi» Yayogerwa Al-haakim ne Twabaraani.
2- Era nsonga y'okwagalwa ebitonde.
3. Era ky'ekintu ekisinga okuzitowa ku minzaani.
- Mu hadiithi: «Ekintu ekigenda okusinga obuzito ku minzaani ku lunaku kw'ekomerero, mpisa nnungi» yayogerwa Abu Dauda, ne Tirmidhi.
4. Era empeera zikubisibwamu kulw'empisa ennungi.
- Mu hadiithi «Mazima ddala omukkiriza afuna olw'empisa ennungi, amadaala g'omuntu ayimirira ekiro n'asiiba emisana» yayogerwa Ahmad.
5. Era kabonero ka bujjuvu bwa bukkiriza.
Mu hadiithi: «Omukkiriza asinga abakkiriza obujjuvu bw'obukkiriza, y'oyo abasinga empisa ennungi» yayogerwa Abu Dauda ne Tirmidhi.
Okulongoosa: kwe kubeera ku Allah lubeerera, n'okukolera ebirungi n'okulongoosa eri ebitonde.
Yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye): «Mazima ddala Allah yalagira okuyisa obulungi buli kintu» yayogerwa Muslim.
Ebimu ku bifananyi by'okulongoosa:
✔ Okulongoosa mu kusinza Allah, era ekyo kibeerawo na kumwawula mu ku musinza.
✔Okulongoosa eri abakadde ababiri, mu njogera n'ebikolwa.
✔ Okulongoosa eri ab'enganda.
✔Okulongoosa eri mulirwaana.
✔Okulongoosa eri ba mulekwa n'abeetaavu.
✔Okulongoosa eri akuyisizza obubi.
✔ Okulongoosa mu kukaayana.
✔ Okulongoosa mu bigambo.
✔ Okulongoosa eri ebisolo.
1- Obwesigwa mu kukuuma obuvunanyizibwa bwa Allah.
Ekifaananyi ky'ekyo: Obwesigwa mu kutuukiriza ebikolwa by'okusinza Allah, omuli esswala, zakat, okusiiba okukola hijja, n'ebirara mw'ebyo Allah byeyatulaalikako.
2- Obwesigwa mu kukuuma obuvunanyizibwa bw'ebitonde:
-Omuli okukuuma ebitiibwa by'abantu.
- N'emmaali yaabwe.
- N'emisaayi gyabwe.
- N'ebyama byabwe na byonna abantu byebaba bakwesigisizza nabyo.
Allah yagamba nga ayogera ku bitendo by'abeesiimye: (Era be bo abakuuma obwesigwa bwabwe n'endagaano zaabwe) [Suurat Al-mu-uminuuna: 8]
Okwanukula: Obukumpanya, okusulirira obuvunanyizimbwa bwa Allah, n'obuvunanyizibwa bw'abantu.
-yagamba Allah: (Abange mmwe abakkiriza! Temukumpanyanga Allah n'Omubaka We, wadde n'okukumpanya obwesigwa bwammwe nga nammwe mumanyi) [Al-anfaal: 27].
-yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Obubonero bw'omunnanfuusi buli busatu», n'ayogera mu bwo- «bw'aba atereseddwa akumpanya». yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Okwanukula: Kwe kwogera ekintu ekikwatagana n'ekiriwo, oba okwogera ekintu nga bwekiri.
Ebimu ku bifaananyi byago:
-Okwogera amazima nga onyumya n'abantu.
-Amazima mu ndagaano.
-Amazima mu buli kigambo na mu buli mulimu.
yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Mazima ddala amazima galungamya eri obulungi, ate mazima ddala obulungi butwaala mu jjana, era mazima omusajja asobola okwogera amazima natuuka nafuuka omwogezi wa mazima» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Okwanukula: Obulimba, era kwe kwawukana n'ekituufu.
mukyo mulimu: okulimba abantu, okwawukana ku ndagaano, n'okujulira eby'obulimba.
yagamba nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Era mazima ddala obulimba, bulungamya eri obwonoonefu, ate obwonoonefu butwala mu muliro, mazima omusajja asobola okulimba mpaka lwawandikibwa mu maso ga Allah nti mulimba nnyo» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Era Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «Obubonero bw'omunnanfusi buli busatu»-n'ayogera mu bwo- «bw'anyumya alimba, ate bw'alaganyisa ayawukana ku ndagaano» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Okwanukula: -Okuguminkiriza mu kugondera Allah.
- Okuguminkiriza n'otajeemera Allah.
- Okuguminkiriza ebigezo bya Allah ebiruma, n'okutendereza Allah ku buli mbeera.
yagamba Allah: {Ne Allah ayagala nnyo abaguminkiriza} [Suurat aal-Imraan: 146].
Era Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «Embeera z'omukkiriza zeewunyisa, mazima embeera ze zonna nnungi, ate ekyo tekiri okujjako kumukkiriza yekka, bw'afuna ekimusanyusa yeebaza, ekyo nekiba kirungi gyali, ate era bwafuna ekimunyiza aguminkiriza, nekiba kirungi gyali». yayogerwa Muslim.
Okwanukula: Bwebutaguminkiriza ku kugondera Allah, n'obutaguminkiriza kubutakola byonono, n'okunyigira okugera kwa Allah n'ebigambo oba ebikolwa.
Ebimu ku bifananyi by'obutaguminkiriza:
-Okwegomba okufa.
yagamba nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Teyegombanga omu mu mmwe okufa olw'obuzibu obumutuuseeko, bwekiba nga talina ngeri gyakyewala agambe: Ayi Allah mpangaaza bwebuba nga obulamu bwebulungi gyendi, era onzite bwekuba nga okufa kwekulungi gyendi.) yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
-Okwekuba empi kumatama.
-Okuyuza engoye.
-Okusumulula enviiri.
-Okwesabira okizikirira.
yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye: «Ssi wa muffe oyo ayeekuba empi mu kyenyi, n'ayuza n'engoye, nayogera n'ebigambo ebyayogerwanga nga obusiramu tebunnajja» yayogerwa Bukhaari.
yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Mazima obunene bw'empeera buli wamu n'obunene bw'ekigezo, era mazima Allah bwayagala abantu abagezesa, yenna asiima ebigezo bya Allah, naye Allah amusiima, ate yenna anyiigira ebigezo bya Allah, ne Allah amunyigira». yayogerwa Tirmidhi ne Ibun Maajah.
Okwanukula: Be bantu okuyambagana wakati wabwe ku mazima n'obulungi.
Ebifaananyi by'okuyambagana:
-Okuyambagana mu kuzzaayo obuvunanyizibwa bw'abantu.
-Okuyambagana mu kugoba omulyazamanya.
-Okuyambagana mu kumala ebyetaago by'abantu n'abeetaavu.
-Okuyambagana ku buli kirungi.
-Obutayambagana mu kwonoona, n'ebibi n'obulumbaganyi.
yagamba Allah: (Muyambagane mu kukola obulungi n'okutya Allah, wabula temuyambagana ku kwonoona n'obulabe, mutye Allah, mazima Allah muyitirivu wa kubonereza) [Al-Maa-ida:2].
yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Omukkiriza n'omukkiriza balinga muzimbo, buli gumu gunyweza omulala» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Era Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «Omusiraamu muganda wa musiraamu munne, tamulyazaamaanya, era tamuleka kulyazamanya, yenna ayamba muganda we mu bwetaavu, naye Allah amuyamba, yenna ajja omusiraamu mu buzibu, naye Allah amuggirawo obuzibu mu bizibu by'olunaku lw'enkomerero, Yenna abikkirira omusiraamu, naye Allah amubikkirira ku lunaku lw'enkomerero» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Okwanukula: 1.Okukwatira Allah ensonyi: ekyo kibeera mu butajeemera Allah.
2: Okwatibwa abantu ensonyi: nga okulekayo okwogera ebigambo eby'obuwemu, n'okulaga obwerere.
Yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Obukkiriza bulimu amadaala wakati w'ensavu mu asatu n'ensanvu mu mwenda, oba nkaaga mu asatu n'enkaaga mu mwenda, nga n'eddaala erisinga enkizo ky'ekigambo LAA ILAAHA ILLA LLAHU, n'erisembayo wansi okujjawo ekinyiiza mu kkubo, n'ensonyi ddaala mu madaala g'obukkiriza» yayogerwa Muslim.
Okwanukula: Okusaasira abakuze mu myaka, n'okubawa ekitiibwa.
-Okusaasira abaana abato. mu hadiithi: «Ssi wa muffe oyo atawa bakulu kitiibwa mu ffe, ate nga tasaasira bato muffe» yayogerwa Ahmad.
- Okusaasira omwavu, omunaku n'omwetaavu.
- Okusaasira ebisolo nga obiriisa n'okubinywesa era n'okubiyisa obulungi.
Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «Olaba abakkiriza mukusaasirigana kwabwe, n'okwagalana kwabe, n'okukwatibwagana ekisa balinga omubiri, ekiyungo kimu bwekirwala n'ebisigadde nabyo birwalira wamu nakyo» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Era yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Abasaasizi nabo Allah abasaasira , musaasire abali ku nsi, ajja kubasaasira oyo ali mu ggulu» Yayogerwa Abu Dauda ne Tirmidhi.
Okwanukula: -Okwagala Allah.
yagamba Allah: (N'abo abakkiriza bebasinga okwagala Allah). [Surat Al-baqara: 165].
-Okwagala omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye.
yagamba okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Ndayira oyo awaniridde omwoyo gwange mu mukono gwe, tayinza kukkiriza omu mu mmwe, okutuusa nga nze nsinga okwagalwa gyali, n'okusinga muzadde we, ne mutabani we» yayogerwa Bukhaari.
Okwagala abakkiriza, n'okubaagaliza ebirungi nga bweweeyagaliza.
yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Tayinza kukkiriza omu mu mmwe okutuusa nga ayagalizza muganda we ekyo kyeyeeyagaliza» yayogerwa Bukhaari.
Okwanukula: Kwekusanyuka kw'ekyenyi, n'okumwenya n'okwolesa essanyu nga osisinkanye abantu.
Era kyekyenyume ky'okusiba emitaafu eri abantu, ekimu kubibasembeza ewala.
Hadiithi ezilaga obulungi bw'ekyo zajja, hadiithi nga eva ku abu Dharri Allah amusiime yagamba: yangamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Tonyomanga kintu kyonna nga kirungi, nebwekuba kusisinkana na muganda wo n'ekyenyi nga kisanyufu» yayogerwa Muslim.
-Era yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Okumwenyako mu kyenyi kya mugandawo saddaaka» Yayogerwa Tirmidhi.
Okwanukula: Kwe kwegomba ekyengera okuva ku mulala, oba okutamwa omulala okufuna ekyengera.
yagamba Allah: {Era ne mu bubi bw’ow’ensaalwa bw’aba nga asaaliddwa} [Al-falaq:5].
Ne hadiithi nga eva ku Anas ibun Maalik Allah amusiime, mazima Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «Temwenyigirangana, era Temukwatibwagana nsaalwa, era temukubagana mabega, wabula mubeere-abange mmwe abaddu ba Allah- ba luganda» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Okwanukula: Kwe kujereegerera mugandawo omusiraamu, n'okumukkakkanya, era ekyo tekikkirizibwa.
Yagamba Allah nga agaana ekyo: Abange mmwe abakkiriza! Ekibiina (mu mmwe) tekinyoomanga ekibiina ekirala kyandiyinza okuba (kye banyoomerera) nga kye kirungi (mu maso ga Allah) okusinga bo, wadde n'abakyala tebanyoomanga bakyala bannaabwe (kubanga) bandibeera nga be balungi (eri Allah) okusinga bo; wadde temwevvoolangananga (temukyiinagananga) mwekka na mwekka (abamu okuvvoola bannaabwe), era temuyitinngananga amannya amabi (agokuvumagana n'okujeregagana). Erinnya erisinga obubi okuyita omuntu ly'elyo erityooboola (omuntu bwe) oluvannyuma lw'okuba omukkiriza: N'omuntu ateenenya, abo bo be balyazaamaanyi (abassa ebintu mu bitali bifo bya byo). [ Al-hujuraat :11].
Okwanukula: Ye muntu obuteesukkulumya ku bantu, n'atanyooma bantu, ate era n'atagaana mazima.
yagamba Allah: {N'abaddu ba Allah abo abatambula ku nsi nga bakkakkamu} [ Al-fur-qaan: 63]. Amakulu: nga bakkakkamu
Era yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Omuntu tayinza kwetowaza ku lwa Allah, okujjako nga Allah amusitula amadaala». yayogerwa Muslim.
Era Nabbi (okusaasira n'emirembe bibeere ku yye) yagamba: «Mazima Allah yansindikira obubaka nti: mwetowaze, omuntu aleme kwekuluntaliza ku mulala, yadde okumulyazaamaanya» yayogerwa Muslim.
Okwanukula: -Okwekuluntaliza ku mazima, era nga nakwo kugaana amazima n'obutagakkiriza.
2- Okwekuluntaliza ku bantu, nga nakwo kwekubanyooma n'okubakkakkanya.
Yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: Tajja kuyingira Jjana, oyo yenna alibaamu nakanyinkuuli k'okwekuluntaza mu mutima gwe» Omusajja na'gamba: omuntu ayagala engoyeze okuba nga nnungi, nga n'engatto ze nnungi?, Nabbi n'agamba: «Mazima Allah mulungi, ayagala birungi, naye okwekuluntaza:kwe kugaana amazima, n'okunyooma abantu» yayogerwa Muslim.
-Batarul-haqi: Kwe kugagaana.
*Gamtu-nnaas:
kwe okubanyooma.
- Olugoye olulungi, n'engatto ennungi tebigwa mu kwekuluntaza.
Okwanukula: -Obufere mu kutunda n'okugula: kwe kukweka akamogo k'ekyamaguzi.
-Okufera mu kunoonya okumanya, okugeza nga okukoppa mu bibuuzo.
- Okufera mu bigambo nga okujulira obulimba, n'okulimba.
- Obutatuukiriza byoyogera ne by'okkanyizzaako n'abantu.
Mu kugaana obufere: lumu Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yayita ku mulengo gw'emmere, n'ayingizaamu omukono, engalo ze nezitoba, n'agamaba: «Kiki kino owange gwe nannyini mmere?» n'amugamba: enkuba yagikubye owange gwe omubaka wa Allah, Nabbi na'mugamba nti:« Wandigitadde kungulu abantu nebagiraba, yenna alimba taba wa munze(mu kibiina kyange)». yayogerwa Muslim.
Subrat: Omulengo gw'emmere.
Okwanukula: Okwogera kumugandawo omusiraamu byatamwa nga taliiwo.
yagamba Allah: «Era abamu tebageyanga bannaabwe. Abaffe omu mu mmwe yandyagadde okulya ennyama ya muganda we affudde? Nedda, temukyagala (ekyo; n'olw'ekyo na biri mubitamwe). Era mutye Allah Mazima Katonda Akkiriza abeenenya, Musaasizi» [ Al-hujuraat:12].
Okwanukula: Kwe kuzitoowererwa okukola ebirungi, n'ebyo ebikakata ku muntu okukola.
Mu kyo mulimu: Okugayaala mu kukola eby'etteekwa.
Yagamba Allah omugulumivu: «Mazima abannanfuusi bakwenyakwenya Allah, wabula naye wa Kubakwenyakwenya. Bwe baba nga bayimiridde okusaala; bayimirira nga bagayaavu lwa kweraga bantu, era tebayogera ku Allah wabula katono nnyo» [ An-nisaa: 142].
Kigwana ku mukkiriza okulekayo obugayaavu n'okweetulako, wabula asaana okwanguwa n'okulafuubana mu bulamu bw'ensi nga akola ebyo ebisanyusa Allah.
Okwanukula: 1- Okunyiiga okulungi: kwe kwo okubaawo ku lwa Allah singa abakafiiri oba abannanfuusi oba abalala bagezaako okulumbagana ensalo za Allah.
2- Okunyiiga okubi: okunyiiga okuleetera omuntu okwogera n'okukola ebitasaana.
Eddagala ly'okunyiiga okubi:
- Okufuna wudhu.
- Okutuula bw'aba abadde ayimiridde, n'okwebaka bw'aba abadde atudde.
- Okwekwata ku kuwabula kwa Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye ku nsonga eyo: «tonyiiga».
- Okwefuga ng’onyiize.
- Okusaba Allah akukingirize sitaani enkolimire.
- Okusirika.
okwanukula:
Okudiibuuda: kwe kuteeka emmaali w'etagwaana.
ekyennyume ky'eko bw'ebukodo: kwe kugaana okuteeka emmali w'esaana okugenda.
N'ekituufu: Kwe kubeere wakati w'ebibiri, n'omusiraamu okubeera omugabi.
yagamba Allah: {(Abaddu ba Allah) era beebo bwe baba nga bagabye tebadiibuuda era tebaganiriza, okuwaayo kwabwe kuli wakati w'ebyo byombi} [Suurat Al-furqaan: 67].
Okwanukula: Kwe kutya ekitasaanidde kutiibwa.
Ng'okutya okwogera amazima, n'okuziyiza ekibi.
Obuvumu: kwe kuyimirira ku mazima, okugeza nga okugenda mu bisaawe bya jihaadi okulwanirira Obusiraamu n’Abasiraamu.
Era Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye mukusaba kwe yagambanga nti: «Ayi Allah nkusaba onkingirize obutiitiizi....».
-Era yagamba omubaka Wa Allah okusaaasira n'emirembe bibere ku yye: «Omukkiriza ow'amaanyi mulungi nnyo era ayagalwa nnyo eri Allah okusinga omukkiriza omunafu, naye byonna mulimu obulungi». yayogerwa Muslim.
Okwanukula: -Okugeza nga Okukolima, n'okuvuma.
-N'okugeza nga okugamba nti: gundi nsolo, oba ebifaanana bwebityo.
-oba okuwemula.
Nabbi ebyo byonna yabigaana n'agamba: «Omukkiriza tabeera mutyobozi(muvumi), wadde okubeera omuyitirivu w'okukolima, wadde okubeera omuwemu, wadde okuba nga talina nsonyi» Yayogerwa Tirmidh ne Ibun Hibbaan.
Okwanukula: 1.Okusaba Allah akugabirire empisa ennungi, era azikuyambeko.
2- Okumanya nti Allah akulondoola, era akumanyi, akuwulira, ate akulaba.
3- Okujjukira ennyo empeera y'empisa ennungi, nti era nsonga ekuyingiza ejjana.
4- Okujjukira enkomerero y'empisa embi, nti era nsonga eyingiza omuliro.
5- Mazima empisa ennungi zireeta okwagalibwa Allah, n'okwagalibwa ebitonde bye, nti era n'empisa empisa embi zireeta obusungu bwa Allah n'okunyiiga kwe.
6- Okusoma ebyafaayo bya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, n'okumwefaanaanyiriza mu nkola ze.
7- Okukwana emikwano emirungi, n'okwesamba emikwano emibi.
********
Dhikir esinga obulungi omutima n’olulimi bye gikkiriziganyizzaako.