Ekitundu kya Fiqihi
Okwanukula: okwetukuza: kwe kujjawo ekizuusi, n'okuvawo kw'obukyafu. amakulu okujjawo ekiremesa okusaala.
Yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibere ku yye: (Ekisumuluzo ky'esswala kwetukuza) Yayogerwa abu dauda.
Okwetukuza okuva mu bukyafu: Ye musiraamu okujjawo obukyafu bwonna obubeera bugenze ku mubiri gwe, oba olugoye lwe, oba ekifo ky'asaliramu.
Okwetukuzaako ekizuusi: kwe kwetukuza nga ofuna wudhu oba nga onaaba n'amazzi amatukuvu, oba nga otayammama(okwetukuza nga okozesa enfufu) eri oyo abeera abuliddwa amazzi oba nga tasobodde kugakozesa.
Okwanukula: Okyoza n'amazzi mpaka bwekitukula. Naye ate ekyo embwa kyekombyeeko; kyozebwa emirundi musanvu nga ogusooka okozesa ttaka.
Hadiith nga eva ku Abu Huraira Allah amusiime yagamba: yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye nti: Okutukula kw'ekyombo ky'omu mumwe singa embwa ekikombamu, kukyoza mirundi musanvu, nga ogusooka okozesa ttaka. Yayogerwa Muslimu.
Okwanukula: Yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Omusiraamu oba Omukkiriza bw'afuna wudhu, n'anaaza ekyenyi kye, buli kyonoono kyeyatunuddeko n'amaso ge kivaamu mu kyenyi kye n'amazzi, oba n'ettondo ly'amazzi erisembayo.
bw'anaaza emikono gye, buli kyonoono kyeyakutteko n'emikono gye kimuvaako n'amazzi ago, oba n'ettondo ly'amazzi erisembayo,
bw'anaaza amagulu ge, buli kyonoono kyeyakoze nga atambuza amagulu ge kimuvaako n'amazzi ago oba n'ettondo ly'amazzi erisembayo, okutuusa lw'amaliriza nga mukutuvu talina byonoono». Yayogerwa Muslim.
Okwanukula: nakunaaba ebibatu emirundi esatu. N'okunyumunguza mu kamwa, n'okufeesafeesa amazzi mu nnyindo n'okuganyiza emirundi esatu
-N'okunyumunguza mu kamwa: kwekuteeka amazzi mu kamwa n'okugawandula.
- N'okufeesafeesa: kwe kusika amazzi n'empewo negayingira mu nnyindo nga okozesa omukono ogwa ddyo.
-N'okugawandula: kwe kufulumya amazzi gewasise okuva mu nnyindo nga okozesa omukono ogwa kkono.
-Oluvannyuma n'onaaba ekyenyi emirundi esatu.
-Oluvannyuma n'onaaba emikono gyombi mpaka ku nkokola emirundi esatu.
-Oluvanyuma n'osiimuula mumutwe nga ozza mumaaso n'emabega, n'osiimuula n'amatu gombi.
-Oluvannyuma n'onaaza ebigere byombi mpaka kubukongovule emirundi esatu.
Eyo yewuzi enzijuvu, era ekyo kyakakasibwa okuva ku Nabbi okusasira n'emirembe bibeere ku yye mu hadithi eziri mu bukhari, ne muslim nga bazijja ku Uthman ne Abdullahi bin zaid, n'abalala.
Era kyakakasibwa okuva mu kitabo kya Bukhari n’abalala. Mazima yafunako wudhu omulundi gumu gumu, era n'afunako wudhu emirundi ebiri, ekitegeeza: yanaaba buli kiyungo kya wudhu omulundi gumu, oba emirundi ebiri.
Okwanukula: Byebyo nga singa omusiraamu alekayo ekimu ku byo wuzu ye tetuuka.
1- Okunaaba ekyenyi era mwe muli okunyumunguza mu kamwa n'okufesafesa amazzi n'okugafulumya mu nnyindo.
2- Okunaaba emikono okutuuka ku nkokola.
3- Okusiimuula omutwe, era kwe kuli amatu.
4- Okunaaba ebigere byombi outuuka kubukongovule.
5- Okugoberezeganya ebiyungo. nga otandika n'ekyenyi n'ozzaako emikono, n'ozzaako omutwe, n'ozzaako amagulu.
Yagamba Allah omusukkulumu: {Abange mmwe abakkiriza! Bwe mubanga muyimiridde okugenda okusaala, munaaze mu maaso gammwe n'emikono gyammwe okutuusa ku nkokola, era musiige ku mitwe gyammwe amazzi n'ebigere byammwe (mubinaaze) okutuusa kubukongovvule. [Al-Ma-ida 6].
6-Okuliiraanyisa: Era kwe kufuna wuzu mu kiseera kimu nga tewali kwawula mu budde okutuusa ekiyungo lwekikala. Ng'okufunako ekitundu kya wuzu, ate n'ojjuza mu kiseera ekirala. eyo wuzu teba ntuufu.
Olwa hadiith: Mazima Nabbi okusasira n'emirembe bibere ku yye yalaba omusajja nga emabega w'ekigere kye waliyo akatundu akenkana ekinusu nga tekatuuseeko mazzi, Nabbi n'amulagira addemu okufuna wuzu, n'eswala ajiddemu. Yayogera Abu Dauda.
Sunna za wudhu: by'ebintu nga omuntu bw'abikola nga afuna wuzu, afunamu empeera, ate bwaba abirese tafuna musango, era wuzu ye ebeera ntuufu.
1- Okugamba nti Bismillah. Olwa hadiith: «Teri wuzu nzijuvu eri oyo aba tayogedde ku linnya lya Allah» Yayogerwa Abu Dauda.
2. Okusenya. Olwa hadiith «Singa tekwali kukalubiriza bantu ba kibiina kyange, nandibalagidde nebasenya buli ku kufuna wudhu.» Yayogerwa Ahmada
3- okunaaba ebibatu byombi
4. Okusosola engalo. Olwa hadiith: «Jjuza wuzu( amakulu nti buli kiyungo kinaazibwe nga bwekitekeddwa), era sosola wakati w'engalo zo wamu n'ebigere, era feesafeesa amazzi gatuuke ewala mu nnyindo, okujjako nga wasiibye» Yayogerwa ba nannyini sunani.
5- Olunaaba olw'okubiri, n'olwokusatu ku buli kiyungo.
6. Okutandika ne ddyo Olwa hadiith ya mama wa bakkiriza Aisha- Allah amusiime yagamba: «Nabbi yayagalanga nnyo okutandika n'oludda olwa ddyo, mukwambala engatto ze, nemukusaaniriza enviiri ze ne mukwetukuza, nemunsonga ze zonna» Yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
7- Okusoma edduwa oluvannyuma lwa wuzu: «Ashihadu an Laa Ilaaha illa Allah Wahdahu laa shariika lahu, wa ashihadu anna Muhammadan Abduhu wa Rasuuluhu». Yayogerwa Muslim.
8: Okusaalayo eraka bbiri oluvannyuma lwa wuzu. Olwa hadiith: «Yenna afuna wuzu nga eyange eno, oluvannyuma n'asaalayo eraaka bbiri natazirowoolezaamu nnyo biri bweru wa swala, Asonyiyibwa amazambi ge geyakulembeza okukola» Yayogerwa bukhaari ne Muslim.
Okwanukula: Buli ekifuluma okuva mu makubo abiri, mu maaso n'emabega. nga Omusulo, Empitambi, n'omukka.
-Okwebaka, oba okugwa eddalu, oba okuzirika. Olwa hadiith: «Amaaso ky'ekisiba ky'emabega, yenna eyeebaka afune wuzu nga azukuse» Yayogerwa Abu Daud, ne Ibun Maajah.
-Okulya ennyama y'eŋŋamiya. Omusajja yabuuza Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: Nfuna wuzu nga ndidde ennyama y'eŋŋamiya?, namuddamu nti:« yye». Yayogerwa Muslim.
Okukwata ku bwerere (mumaaso oba emabega) nga tewali kiziyiza. Olwa hadiith: «Yenna akwata ku bwerere bwe afune wuzu» Yayogerwa Abu Dauda, ne Tirmidhi n'abalala.
Okwanukula: Na kuba ttaka n'ebibatu byombi, n'osiimuula mu kyenyi, nekungulu kwebibato omulundi gumu.
Olw'ekigambo kya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba Ammaar (Allah amusiime): «Kibadde kikumala okukola bw'oti» Nabbi n'akuba nebibatu bye byombi ku ttaka, n'abifuuwako, oluvannyuma nabikozesa byombi n'asiiga mu kyenyi kye, ne kungulu kw'ebibatu bye. Yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Okwanukula: -khuffu: Ekyo ekyambalwa ku kugulu nga kikolebwa mu ddiba.
-Jaurab: ekyambalwa ku kugulu nga tekiva mu ddiba( nga sitokisi).
Era kikkirizibwa mumateeka okuzisiimulako mukifo ky'okunaba ebigere.
Olwa hadith ya Mughiira bin shu'uba(Allah amusiime), nti Omubaka Wa Allah(okusasira n'emirembe bibere ku yye) yafuna wudhu, n'asiiga sookisi. Yayogerwa Abu Daud, ne Tirmidhi, n'abala.
-Ate mu kitabo kya Bukhaari ne Muslim: Yafuna wuzu n'asiga ku khuffu ze.
Okwanukula: 1.
Okwambala engatto z'eddiba nga amaze kufuna wudhu.
Olwa Hadiithi ya Mughiira Ibun Shu'ba Allah amusiime yagamba:
Nali ne Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye mu lugendo, nenkutama mmujjemu engatto ze ez'eddiba, n'angamba: «zireke nazambadde nina wuzu». n'azisiimuulako. Yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
2- Engatto erina kuba nga ntukuvu, tekikkirizibwa kusiiga ku nkyaafu.
3- Engatto erina okuba nga ebikka ekitundu ky'ekigere ekiteekeddwa okunaazibwa singa omuntu aba afuna wuzu.
4- Okusiiga ku ngatto kulina kubeera mukiseera ekigere.
omutuuze atali mutambuze Olunaku lumu(emisana n'ekiro), ate ali mu lugendo: Ennaku satu n'ebiro bya zo.
Olwa hadiith ya Ali Katonda amusiime: Omubaka wa Katonda okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yateerawo omutambuze ennaku satu n'ebiro byaazo, ate omutuuze olunaku lumu n'ekiro kyalwo. Yayogerwa Muslim.
Okwanukula: 1- Singa ebbanga ly'okusiiga liggwaako.
tekikkirizibwa kusiiga ku ngatto nga ebbanga eryakkirizibwa liweddeko. olunaku n'ekiro kyalwo ku mutuuze, Ennaku satu n'ebiro bya zo ku mutambuze.
2- Okujjamu khuffu , singa omuntu ajjamu kuffu zombi oba emu ku zzo oluvannyuma lw'okusiiga, okusiiga kuba kufudde.
Okwanukula:
1- Obusiraamu; Esswala y'omukaafiiri tetuuka; olwokuba nti emirimu gyonooneka olwa shirki.
Yagamba omugulumivu: {Singa wagatta ku Allah-ekintu kyonna- emirimu gyo gyandiyonoonese} [Suurat Az-zumar: 65].
2-Amagezi(okutegeera); Esswala y'omulalu tetuuka.
3-Okwawula; esswala y'omwana omuto atayawula wakati w'ekibi n'ekirungi tetuuka.
Olw'ekigambo kya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «ekkalaamu yasitulwa ku [bantu] basatu: eyeebase okutuusa lw'azuukuka, ne ku muto okutuusa lwe yeeroterera (lwaakula), ne ku mulalu okutuusa lwafuna amagezi» Yayogerwa ba nannyini sunani.
4. Okumalirira(Enniyya)
Mu hadiith: «Emirimu gibalibwa nakumalirira, era buli muntu afuna ekyo kyamaliridde» Yayogerwa Bukhaari.
5- Okuyingira kw'obudde. Allah yagamba: {Mazima esswala zaalaalikibwa ku bakkiriza mu biseera ebigere} [An-Nisaa :104]
6- Okwetukuza mu kwejjako ekizuusi. Olwa hadiith: «Allah takkiriza swala y'omu mu mmwe singa aba afunye ekizuusi, okutuusa nga afunye wuzu» Yayogerwa bukhaari ne Muslim.
7- Okwetukuzaako obucaafu Olw'ekigambo kya Allah: (N'engoye zo zitukuze) (Al-Muddathir :4)
8- Okubikka obwereere. Yagamba Allah: {Abange abaana ba Adam mutwalenga okwenyiriza kwamwe awali buli muzikiti} [Al-a'raaf :31]
9- Okwolekera ekibula. yagamba Allah: ( Kale yolekezanga ekyenyi kyo(nga osaala) ku ludda lw'omuzikiti ogw'emizizo(kaaba), na buli wonna wemubanga muli(mwe abasiraamu), mwolekezenga ebyenyi bya mmwe ku ludda lwa gwo } [Al-Baqarah :144]
Okwanukula: Ziri empagi kumi na nnya(14), era z'ezino wammanga:
1: Okuyimirira mu sswala ez'etteeka eri oyo aba asobodde. Olwa hadith ya Imraan bin Huswain Allah amusiime nga agijja ku Nabbi okusasira n'emirembe bibeere ku yye: «Saala ng'oyimiridde, bw'oba nga tosobodde saala ng'otudde, bw'oba tosobodde saala nga weebase ku ludda lwo» Yayogerwa Bukhaari.
Takbiira y'emizizo,
"ALLAHU AKBARU". Olw’ekigambo kye okusaasira n’emirembe ku ye «Bw'oba oyimiridde okusaala leeta Takbiira» Yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Okusoma Al-Faatiha. Olw’ekigambo kye okusaasira n’emirembe ku ye «Teba ntuufu swala y'oyo atasomye suurat Al-faatiha» Yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
- Okukutama ku maviivi, ogolola omugongo neguba nga gwenkana wamu n'omutwe.
Okukutaamulukuka okuva ku maviivi.
-Okwenkanankana nga oyimiridde. Olw'ekigambo kye okusaasira n’emirembe bibeere ku ye: «Oluvannyuma kutama ku maviivi okutuusa lwotebenkera mu kukutama, oluvannyuma yimuka okuva ku maviivi okutuusa lwewesimba bwantoogo» Yayogerwa bukhari ne Muslim.
- Okuvunnama: okuteeka ekyenyi ,enyindo, ebibatu byombi, amaviivi gombi n'enwe z'ebigere mu kifo wovunnamye.
- okuvunamulukuka.
-Okutuula wakati w'envunnama ebbiri. Olw’ekigambo kye okusaasira n’emirembe ku ye: «Oluvannyuma vunnama okutuusa lw'otebenkera nga ovunnamye, oluvanyuma ove mukuvunnama okutuusa nga otebenkedde mukutuula» Yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Sunna mw'ekyo:
Atuule ku kigere kye ekya kkono, n'ayimirize ekigere kye ekya ddyo, era akyolekeze eri Qiblah. Olwa hadiith ya mama wa bakkiriza Aisha- Allah amusiime: «Nabbi yali nga ayanjuluza ekigere kye ekya kkono, ate n'asimba ekya ddyo» Yayogerwa Muslim.
- Okutebenkera, kwe kubeera omutebenkevu ku buli mpagi ey'ekikolwa.
- Tashahhudu esembayo. Olwa hadiith ya Ibun Masuudi Allah amusiime yagamba: Twali tugamba mu sswala nga tahiyaatu tennalaalikibwa. Yayogerwa Nasa'i naye nga ensibuko yayo eri mu kitabo kya Bukhaari n'ekya Muslim.
-Olutuula olwa tahiyyaatu esembayo.
Salaam ebbiri, era kwe kugamba emirundi ebiri nti:" Assalaamu Alaikum warahmatullah". Olwa hadiith: «Mazima yye yali nga atoola salaamu ku ludda lwe olwa ddyo n'olwa kkono, n'agamba nti: Assalaamu Alaikum warahmatullahi » Yayogerwa Tirmidhi n'abalala.
Okulinaanisa empagi zonna nga bwezoogeddwa.
okugeza: Singa akigenderera n'avuunama nga tannakutama eswala efa, naye bw'aba akikoze mumbeera ya kwerabira kimukakatako okuddayo asooke akutame oluvannyuma avuuname.
Okwanukula: Eby'etteeka by'esswala biri Munaana:
1: Takbiira zonna ng'ojjeeeko takibiira y'emizizo
2: Okugamba nti: «Sami-Allahu liman hamidah»
kyogerwa imam, n'omuntu asadde yekka.
3: Okugamba nti: «Rabbana walakalhamdu».
4: Okugamba nti: «Subhaana Rabbiyal-adhwiimu» omulundi gumu mu kukutama.
5: Okugamba nti: «Subhaana Rabbiyal-a-ala» omulundi gumu mukuvunnama.
6:Okugamba nti: «Rabbi ighfir lii» wakati w'envunnama ebbiri.
7: Tahiyyaat esooka.
8: Olutuula lwa tahiyyaatu esooka.
Okwanukula: Ziri kkumi n'emu, nga weziri wammanga:
1: Okugamba oluvannyuma lwa takbiira ey'emizizo nti: «Subhaanaka Allahumma wabihamdika, watabaaraka ismuka, wata-ala jadduka, wa La-Ilaaha ghairuka»
eyo ye duwa eggulawo esswala.
2: Okugamba nti: "Audhu billahi minashaitwaani rrajiim.
3: okugamba nti: "Bismillahi Al-rahmani Al-rahiim.
4: Okugamba nti: Aamiin
5: Okusoma essuula yonna oluvanyuma lwa Al-fatiha.
6: Okusoma mu lwaatu eri imaam.
7: Okugamba oluvannyuma lw'ekigamba "Rabbana walaka-hamdu"
nti: mil-a ssamaawaati wa mil-al-ardhi wa mil-a ma sh'ita min shai-in ba-adahu".
8- Ekyeyongera ku mulundi ogumu mu kugamba (subuhaana rabbiyal-adhiim) ebyogerwa mu ku kutama.
9: Ekyeyongera ku mulundi ogumu mu kugamb (subuhaana rabbiyal a-alaa) ebyogerwa mu kuvunnama.
10- Ekyeyongera ku mulundi ogumu mu bigambo ebyogerwa wakati w'envunnama ebbiri:«Rabbi ighifir lii».
11. Okusaalira Nabbi -Okusasira n'emirembe bibere ku yye-, n'okumusabira emikisa yye n'abantu be, n'okusaba edduwa oluvannyuma lw'okumusaalira mu tahiyyaatu esembayo.
Sunna z'ebikolwa, era ziyitibwa ez'engeri:
1- Okuwanika emikono ng'oleeta takibiira eggulawo esswala.
2- Okuwanika emikono nga oleeta takibiira y'okukutama.
3- Okuwanika emikono ng'ova ku kukutama.
4- N'okugissa oluvannyuma lw'ekyo.
5- Okuteeka omukono ogwa ddyo ku gwa kkono.
6- Okutunula mu kifo w'avunnama.
7- okwawula wakati w'ebigere nga oyimiridde.
8- Okukwaata ku maviivi n'ebibatu byombiriri nga ayanjuluzza enalo ze mukaseera nga okutamye, n'okugolola omugongo, n'agwenkanyankanya n'omutwegwe .
9- Okutuusa ebiyungo by'okuvunnama ku ttaka, n'okubikoonyesa ku kifo ewavunnamirwa.
10- Okwawula emikono n'embiriizize, n'olubuto ku bisambi, n'ebisambi ku ntumbwe, n'okwawula wakati w'amaviivi, n'okusimba ebigere, n'okwanjala ebibatu ku ttaka, n'okuteeka emikono ku kigero ky'ebibegaabega nga myanjulukufu ate nga engalo zekutte wamu. ebyo byonna bikolebwa mu kuvunnama.
11- Okutuula kw'okwanjuluza ekigere ekya kkono netukituulako okubeera wakati w'envunnama ebbiri, ne mu tahiyyaatu esooka.
n'okutuula okw'okuyisiŋŋanya amagulu mu tahiyyaatu esembayo.
12- Okuteeka emikono kubisambi nga myangyulukufu, nga engalo zegasse wamu mu lutuula wakati w'envunnama ebbiri, ne mu tahiyatu.
naye ku tahiyatu bwoba oyogera ku linya lya ALLAH olugalo lwa nasswi kumukono ogwa ddyo n'oluluddirira zizingibwa, ate ekigalo ekisajja nekikwasibwa n'olwawakati, n'osonga n'oluddirira ekigalo ekisajja.
13- Okukyuka n'otunula ku ddyo ne ku kkono nga otoola salaamu.
Okwanukula: Engeri y'okusaalamu:
1- Ayolekera ekibula n'omubiri gwe gwonna nga tokyuseemu wadde.
2- Oluvannyuma n'aleeta enniya ye sswala gy'agenda okusaala n'omutima gwe sikugyogera.
3- Oluvannyuma n'aleeta Takibiira eyemizizo n'agamba nti: (Allahu Akbar), n'awanika emikino gye okwenkanankana n'ebibegabega by mukaseera w'aleetera takibiira.
4- Oluvannyuma n'ateeka ekibatu kye ekya ddyo ku kya kkono mu kifuba kyo.
5- Oluvanyuma n'oggulawo esswala nga ogamba nti: «Allahumma Baa-id bainii wa baina khatwayaaya kama ba'adta baina-almashriqi walmaghribi, Allahumma Nakkinii min khatwayaaya kamaa yunaqqaa thaubul-abiyadhu mina ddanasi, Allahumma ighsilnii min khatwayaaya bil-maa'i wa thalji wal-barad».
Oba n'agamba: «Subhaanaka Allahumma wabihamdika watabaaraka ismuka wata'aala jadduka wa la Ilaaha ghairuka».
6- Oluvannyuma neyenkingiriza Shaitwan nga agamba nti: «A-uudhu billaahi mina shaitwani rrajiim».
7.Oluvannyuma n'osoma bismillah ne surat Al-fatiha.
n'ogamba: (Bismillaahi rrahmaan rrahiim 1 Alhamdu lillahi rabbil-aalamin 2 Arrahmaani rrahiim 3 Maaliki yaumi ddiin 4 Iyyaaka na-abudu wa iyyaaka nasta'iin 5 Ihdina swiratwal-mustaqiim 6 Swiratwa lladhiina an-amta Alaihim, ghairil-maghdhuubi Alaihim Wala dhwaalliin 7) [suurat Al-faatiha: 1-7].
Oluvannyuma n'agamba (aamiin).
amakulu: ayi Allah yanukula.
8- Oluvannyuma n'asomayo ekimwanguyidde mu quran,
awanvuyaamu mu kusoma bw'aba ali mu sswala ya subuhi.
9- Oluvannyuma n'akutama. amakulu nti: aweta omugongo gwe ku lw'okugulumiza Allah, era n'aleeta takibiira nga agenda okukutama, n'awanika emikono gye okwenkana ebibegabega bye. Enkola eya sunna mwekyo: agolola omugongo gwe, n'agwenkanyankanya n'omutwe gwe, n'ateeka emikono gyo ku maviivi ge ng'ayanjadde engalo ze.
10- Oluvannyuma n'agamba: «Subhaana Rabbiyal-adhwiimi» ekyo akyogera emirundi esatu, naye bw'aba ayongeddeko n'agamba nti « Subhaanaka Allahumma wabihamdika Allahumma ighfir lii» nakyo kirungi.
11- Oluvannyuma n'avaayo mu kukutama n'adda waggulu nga agamba nti:«Sami-Allahu liman hamidah», n'asitula emikono gye okwenkana ebibegaabega bye. Omugoberezi (asaalidde emabega wa imaam) yye tagamba nti:(Sami-Allahu liman hamidahu), wabula agamba nti:«Rabbanaa walakalhamdu».
12: Oluvannyuma lw'okuddayo waggulu agamba nti:«Rabbanaa walakal-hamdu, mil-a ssamaawaati wal-ardhi, wamil-a ma sh'ita min shai-in ba-adahu»
13- Oluvannyuma n'avunnama oluvunnama olusooka, era n'agamba nga agenda okuvunnama nti: (Allahu akbar), era avunnamira kubiyungo bye omusanvu: Ekyenyi n'enyindo, n'ebibatu ebibiri, n'amaviivi abiri, n'enwe z'obugere bw'ebigere byombiriri, n'alekawo ebbanga wakati w'emikono gye n'ebavu ze(oludda olwa ddyo n'olwa kkono), emikono gye tagissa ku ttaka, era n'atunuza omutwe gwe n'engalo ze mu kibula.
14- N'agamba nga avunnamye nti: «Subhaana Rabbiyal-a'ala» emirundi esatu, bw'aba ayongeddeko n'agamba nti: «Subhaanaka Allahumma Rabbanaa wabihamdika Allahumma ighfir lii» kiba kirungi.
15- Oluvannyuma n'asitula omutwe gwe okuva ku kuvunnama n'agamba nti:«Allahu akbar».
16- Oluvannyuma n'atuula wakati w'envunnama ebbiri ku kigere kye ekya kkono, n'asimba ekya ddyo, n'ateeka emikono gye ku bisambi bye.
17- N'agamba mu kutuula kwe wakati w'evunnama ebbiri: «Rabbi ighfir lii, warhamnii, wahdinii, warzuqunii, wajburunii, wa aafinii».
18- Oluvannyuma n'avunnama oluvunnama olw'okubiri n'akola nga bweyakoze mu kuvunnama okwasoose.
19- Oluvannyuma n'avaayo mu kuvunnama okw'okubiri nga agamba nti:«Allahu akbar», n'asaala eraaka ey'okubiri nga bweyasadde eyasoose, n'akola era n'oyogera nga bweyakoze mu laaka eyasoose. wabula mw'eno eraaka toddamu kusoma duwa eggulawo esswala.
20- Oluvannyuma bw'amala eraaka ey'okubiri, atuula nga agamba nti:«Allahu akbar», era atuula nga bw'atuula wakati w'envunnama ebbiri.
21- N'asoma tahiyyaatu mu lutuula olwo, n'agamba nti: "Attahiyyaatu lillaahi wa swalawaatu wa twayyibaatu, assalaamu alaika ayyuha-nnabiyyu warahmatullaahi wabarakaatuhu, assalaamu alaina wa ala ibaadi llahi al-swalihiina, Ash-hadu alla ilaaha illa llahu wa ash-hadu Anna muhammadan abduhu wa rasuuluhu, Allahumma swalli ala Muhammad wa alaa aali Muhammad, kamaa swallaita ala ibrahiima wa alaa aali ibrahiima innaka hamiidun majiidu, wa baarik alaa Muhammad wa alaa aali Muhammad kama baarakta alaa ibrahiima wa alaa aali ibraahiima innaka hamiidun majiidu.
A-uudhu billahi min adhaabi jahannama wa min adhaabil-qabri wa min fitnatil-mahyaa wal-mamaat wa min fitnatil-masiihi ddajjaal". Oluvannyuma n'asaba omulezi we Allah kyonna ky'aba oyagadde mu birungi by'ensi n'enkomerero.
22- Oluvannyuma atoola salaamu kumukono gwe ogwa ddyo n'agamba nti:«Assalamu alaikum warahmatullahi», n'akola kyekimu ne ku kkono.
23- Esswala bw'eba ya laaka ssatu oba nnya, atuuka tahiyyaatu esooka w'eggwerako. ku kigamba ekigamba nti:«Ash-hadu Alla ilaaha illa llahu wa ash-hadu anna muhammadan abduhu wa rasuuluhu».
24- Oluvannyuma addamu n'ayimirira nga agamba nti:«ALLAHU AKBAR» era asitula emikono gye okwenkanankana ebibegabega.
25- Oluvannyuma n'asaala ekiba kisigaddeyo ku swala ye, nga bwe yasadde ey'okuburi. okujjako nti mu zino akoma ku kusoma Al-faatiha .
26- Oluvannyuma n'atuula , ng'asimbye ekigere kyo ekya ddyo, ate ekya kkono kyo n'akiyisa wansi wentumbwe eya ddyo, obutuuliro bwe n'abuteeka ku ttaka, emikono gye n'agiteeka ku bisambi bye nga bw'akikoze mu tahiyyaatu esooka.
27- N'asoma tahiyyaatu yonna mw'olwo olutuula.
28- Oluvannyuma atoola salaamu ku mukono gwe ogwa ddyo n'agamba nti:«Assalaamu alaikum warahmatullah», n'akola kyekimu ne ku kkono.
Okwanukula; «Astaghfirullaha» emirundi esatu.
«Allahumma anta salaamu wa minka salaamu, tabarakta ya dhal-jalaali wal-ikraam».
La ilaaha illa llaahu wahdahu la shariika lahu, lahul-mulku wa lahul-hamdu, wa huwa ala kulli shai-in qadiir.
Allahumma la maani-a limaa a-atwaita wa laa mu'twiya limaa mana-ata wala yanfa-uu dhal-jaddi minkal-jaddu».
«La Ilaaha illa llaahu wahdahu laa shariika lahu, lahul-mulku wa lahul-hamdu, wa huwa alaa kulli shai-in qadiir.
laa hawla wa laa quwwata illa billahi, la Ilaaha illa llahu walaa na-abudu illa iyyaahu lahu nni-ima wa lahul-fadhlu wa lahu thanaa-ul-hasan, laa Ilaaha illa llahu mukhliswiina lahu ddiina wa law karihal-kaafiruuna».
«Subhanallah» emirundi asatu mw'esatu.
«Alhamdulillah» emirundi asatu mw'esatu
«Allahu akbar» emirundi asatu mw'esatu.
Oluvannyuma n'agamba okujjuuliriza ogw'ekikumi nti: «Laa Ilaaha illa llaahu wahdahu laa shariika lahu, lahul-mulku wa lahul-hamdu, wa huwa alaa kulli shai-in qadiir».
-N'asoma Suurat Al-Ikhlaas( Qul huwa llahu ahad), ne falaq ne Naas.
emirundi esatu esatu oluvannyuma lwa swalatul fajri ne maghrib.
Omulundi gumu gumu oluvannyuma lw'esswala ezisigadde.
-N'asoma Ayatul-kursi omulundi gumu.
Okwanukula:Laaka bbiri oluberyeberye lw'esswala ya subuhi.
-Laaka nnya oluberyeberye lw'esswala ya zuhuri.
-Laaka bbiri oluvannyuma lw'esswala ya Zuhuri.
-Laaka bbiri oluvannyuma lw'esswala ya maghrib.
-Laaka bbiri oluvannyuma lw'esswala ya ishaa.
Obulungi bwa zo: Yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye : «Oyo yenna asaala mu lunaku n'ekiro eraaka kkumi na bbiri nga za kyeyagalire, Allah amuzimbira enju mu jjana» Yayogerwa Muslim ne Ahmad n'abalala.
Okwanukula: Olunaku lw'ejjuma(olwokutaano), Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba nti: «Mazima ddala olunaku olusinga enkizo mu nnaku zamwe(ennaku za wiiki) lwe lunaku lw'ejjuma, mu lwo Allah mweyatondera Adam, era lweyamutta, era lwelujja okubaako okufuuwa engombe era lwelujja okubaako okufa kw'abantu oluvannyuma lw'okufuuwa mu ngombe, muyitirize nnyo okunsaalirako mu lunaku olwo, kubanga okunsaalira kwamwe kundagibwa». nebagamba nti owaaye gwe omubaka wa Allah, esswaala zaffe zikulagibwa zitya ate nga wafa nogwaawo?, nabagamba: «Mazima ddala Allah yaziyiza ettaka okuba nga limalawo emibiri gya ba nabbi » Yayogerwa Abu daud n'abalala.
Okwanukula: Ya tteekwa ku buli musiraamu, omusajja,nga mukulu, nga ategera, nga mutuuze wa mukitundu.
Yagamba Allah: {Abange mmwe abakkiriza! Bwe mubeeranga (muwulidde) okukoowoola (okwaziina) okugenda eri Okusaala ku Lunaku Lw'okutaano (Olunaku lw’Ejjuma), kale musitukirengamu (okugenda) eri okwogera ku Allah, muyimirizenga okutunda, Ekyo kye kirungi gye muli bwe mubeera nga mumanyi} [Suurat Al-Jumu-ah : 9].
Okwanukula: 1
Okunaaba. Olw’ekigambo kye okusaasira n’emirembe ku ye: «Okunaaba ku lunaku lw'ejjuma kikakata ku buli yenna eyeelooterera» Yayogerwa Bukhaari.
2- Okwekuba akawoowo. Olwa hadiith: «Buvunanyizibwa bwa basiraamu okunaaba ku lunaku lw'ejjuma, era n'omu mu bbo yekubenga ku kawoowo k'abantu be» Yayogerwa Ahmad ne Tirimidhi.
3. Okwambala engoye ezisinga obulungi. Olwa hadiith: «Tewali buzibu bwonna ku omu mummwe bw'aba afunye obusobozi okugulayo engoye bbiri nga zakusaaliramu juma, ezitari za koleramu mirimu gye» Yayogerwa Ibun Maajah, ne Malik mu muwattwa'u.
4- Okukeera okugenda ku muzikiti.
5. Okugenda ku muzikiti ku bigere. Olwa hadiith: «Yenna anaaba ku lunaku lw'ejjuma, n'akeera okugenda ku muzikiti era n'abeera mu khutuba okuva lw'etandise mpaka lw'eggwa, n'asemberera imaam, era n'awuliriza era n'asirika(natayoyogera) buli lutambula lwatambula afuna empeera za mwaka, okusiiba kwagwo n'okuyimirira kwagwo. Yayogerwa Tirmidhi ne Nasaa-i.
6- Okuyitiriza ennyo okusaalira ku Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye. Yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye: «Muyitirize nnyo okunsaalira ku lunaku lw'okutano kubanga zi malayika zijulira, mazima ddala omuntu tayinza kunsaalira okujjako nga ndagibwa okunsaalira kwe mpaka lwamaliriza» Yayogerwa Ibun Maajah.
7. Okusoma Suurat Al-kahfi. Olwa hadiith: «Omuntu asoma suurat Al-kahfi ku lunaku lw'ejjuma, Allah amuteerawo ekitangaala wakati w'ejjuma ebbiri» Yayogerwa Haakim n'abalala.
8- okunoonya akaseera omwanukulirwa edduwa. Olwa hadiith nga eva ku Abu Huraira yagamba nti : Nabbi okusasira n'emirembe bibeere ku yye yayogera ku lunaku lw'ejjuma n'agamba nti: «Lulimu akaseera nga omusiramu tekayinza kumusanga nga ayimiridde asaala nga bw'asaba Allah ekintu kyonna, okujjako nga Allah akimuwa» Yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Okwanukula: Kwekusinza Allah nga weeziyizaako byonna ebisibulula okuva emmambya lwesala mpaka enjuba lwegwa nga omaliridde. N'okusiiba kwa mirundi ebiri:
1- Okusiiba okwetteeka: Okugeza: okusiiba omwezi gwa Ramadhan, era nga nayo mpagi mu mpagi z'obusilamu.
Yagamba Allah omugulumivu: {Abange mmwe abakkiriza! Kwalaalikibwa ku mmwe okusiiba, nga bwe kwalaalikwa kw'abo abaabasooka, oba olyawo ne mutya Allah} [Suurat Al-Baqara:183].
2- Okusiiba okutali kwa tteeka: Okugeza nga: okusiiba olunaku olwa balaza n'olwokuna, n'okusiiba ennaku ssatu buli mwezi era nga n'ennaku ezisinga z'ennaku enjeru(13,14,15) mu buli mwezi ogw'obusiraamu.
Okwanukula: Abu saedi Alkhuduriyyu Allah amusiime yagamba: yagamba omubaka wa Allah okusaasire n'emirembe bibeere ku yye: «Omuddu wa Allah yenna tayinza kusiiba lunaku mu kkubo lya Allah okujjako nga Allah amusembeza wala n'omulila emyaka nsavu» Yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
-Amakulu ga «sab'iina khariifa»: emyaka nsanvu.
Okwanukula:
1- Okwanguyiriza okusibulukuka.
2- Okulya ddaaku, n'okumukeereyesa .
3- Okwongera ku mirimu emirungi n'ebikolwa by'okusinza.
4- Omusiibi okugamba nga bamuvumye nti: nze nasiibye.
5- Okusoma edduwa nga ogenda okusibulukuka.
6- Okusibulukukira ku ntende embisi oba enkalu, bweziba tezifunise, asibulukukira ku mazzi.
Okwanukula: Hijja: kwe kusinza Allah, nga oyolekera enju ye eyemizizo(kaaba) okukolerayo emirimu egyeyawulidde, mukiseera ekyeyawulidde.
Yagamba Allah omugulumivu: { Era Allah Akakasa ku bantu bonna okulambula ennyumba eyo, (nga kino kikakafu) ku muntu aba asobola ekkubo erituuka gy'eri. N'omuntu awakanya (obukakafu bwa Hijja) amanye nti mazima Allah Mugagga} [Suurat Aal-Imran: 97].
Okwanukula: Hadiithi nga eva ku Abu urairat Allah amusiime yagamba: nawulila Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye nga agamba: «Yenna akola hijja n'atakola bikolwa bya bufumbo, era n'atakola kyonoono kyonna ava mumikolo gya hijja ng'olunaku mama we lweyamuzaala » Yayogerwa Bukhaari n'abalala.
-«Ng'olunaku mama we lweyamuzaala»: amakulu nga talina kyonoono kyonna.
Okwanukula: Okuteekamu amanyi mu kusaasaanya n'okutaasa obusiramu n'abasiramu, oba okulwaanyisa omulabe w'obusiramu n'abasiramu.
Allah yagamba: { Mulwane, era mulafuubane n'emmaali yammwe n'emyoyo gyammwe mu kkubo lya Katonda! Ekyo kye kirungi ekisingayo gye muli bwe muba nga mumanyi} [Suurat At-Tauba:42].
******
Okwanukula: Hadiith eva ku Abu Huraira Katonda amusiime, mazima Omubaka wa Katonda okusaasira n'emirembe bibeere kuye yagamba nti: (Mulaba mutya singa omugga gubeera ku mulyango gw'omu mu mmwe, nga anaaba amazi agaguvamu emirundi etaano buli lunaku, abaffe asigazaako ku mubiri gwe ekko?) nebamugamba nti: tasigaza kko lyonna ku mubiri gwe, Nabbi n'abagamba: Ekyo kifananako nga esswala ettano, Allah asangulawo nazo ebyonoono) Yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
-Daran: kitegeeza obukyaafu( ekko)