ekitundu ky'enzikiriza.

okwanukula- omulezi wange ye Allah oyo eyandera n'alera n'ebitonde byonna nebyengera bye, era gwensinza teri mulala gwensinza atali yye, era ye mutonzi, omufuzi, omugabirizi, omuteesiteesi wa byonna ebiri mu butonde .
Era n'obujulizi:
ky'ekigambo kye [Allah] owa waggulu: {Amatendo gonna ga Allah, omulezi w'ebitonde byonna} [Suurat Al- faatiha: 2].

okwanukula: eddiini yange busiraamu, era nga kwe kwewaayo ewa Allah nga oyita mu kumwawula(obutamugattako kintu kyonna) n'okumugondera n'okwesamba okumugattako ekirala, n'abo abamugattako .
Yagamba [Allah] omugulumivu: (Mazima ddala eddini (ebalwa) mu maaso ga Allah Busiraamu...) [Suurat Aali-Imraan: 19].

Okwanukula- Muhammad okusaasira kwa Allah n'emirembe bibeere ku yye.
Yagamba Allah omugulumivu :
(Muhammad mubaka wa Allah...) [Suurat Alfat-hi: 29].

Ekigambo ky'okwawula Allah" Laa Ilaaha illa Allah": era amakulu gaakyo: teri asinzibwa mu butuufu bwakusinzibwa okujjako Allah.
Yagamba Allah omugulumivu {kimanye nti teri asinzibwa mu butuufu bwakusinzibwa okujjako Allah} [suurat muhammad: 19]
Era n'agamba Allah eyayawukana: Bwekityo (bwekirina okuba) olw’okuba ddala Allah y'oyo Ow'amazima era ddala, biri bye bawanjagira nga ojjeeko Yye by’ebyo eby’obutaliimu, era mazima Allah ye wuuyo Owaawaggulu Omugulumivu. [Al-hajj 62].

okwanukula- Allah ali waggulu, waggulu wa namulondo ye, waggulu w'ebotonde byonna. Yagamba Allah omugulumivu Allah omusasizi ennyo ali ku namulondo ateredde. [Suurat twaha: 5]
Era Katonda omugulumivu yagamba: Era ye Muwanguzi w’abaddu be. Era yewuuyo Ssabalamuzi Kakensa. [suurat Al an-aam: 18]

okwanukula: kitegeeza nti: Allah yamutuma eri ebitonde nga musanyusa era nga mutiisa.
Era kyatteeka:

1- okumugondera mw'ebyo byeyalagira.
2- okumukakasa mw'ebyo byeyayogera.
3- Obutamujeemera.
4- Allah tasinzibwa okujjako n'ebyo bye byeyalagira ( amateeka ge), era nga kwe kugoberera sunna n'okwewala okuzuula mu ddini.
Yagamba Allah {Yenna agondera omubaka abeera agondedde Allah} [Suurat Anissa: 80]
Era yagamba eyayawukana: Era tayoyogera nga biva ku kwagala kwe 3 Tekiba kirala wabula bubaka obuweerezebwa okuva eri Katonda 4) [Suurat An-Najm: 3-4.]
Era Allah yagamba: {Mazima mwafuna mu mubaka wa Allah eky'okulabirako ekirungi eri oyo aba alina essuubi mu Allah n’olunaku lw’enkomerero era n’atendereza Allah ennyo. 21} [Suurat al ahzaab: 21].

okwanukula:
Yatutonda kumusinza yekka nga tewali kimwegattako.
Teyatutondera bwereere oba nti gwali muzannyo, oba okutulekeraawo kubwereere n’okulagajjalirwa.
Yagamba Allah:
{Era saatonda majinni na bantu okujjako okunsinza 56} Suurat Adh-dhaariyaat: 56.

okwanukula: ly'erinya erikungaanya buli Allah ky'ayagala era nga akisiima mu bigambo n'emirimu ebyomunda n'ebyeyolefu.
-Ebyeyolefu: nga okwogera ku Allah n'olulimi, n'okusaala n'okukola hijja.
-Ebyomunda: nga okwesigamira Allah, okutya, n'okusuubira.

Okwanukula: Eky'etteeka ekisinga obukulu ku ffe: kwawula Allah mubw'omu bwe.
Allah yagamba:
{Era mpaawo kye baalagirwa okujjako babe nga basinza Allah nga gwe bamalirako yekka eddiini yonna} [Suurat Al-bayyina: 5].

okwanukula:1-Tawheed Ar-Rubuubiyya : okukkiriza nti Allah ye mutonzi, omugabilizi, omuteesitesi w'ensonga zonna, mubw'omu bwe teri kimwegattako kyonna.
2.Tawheed Al-Uluuhiyya: kwekwawula Allah mukumusinza, newatasinzibwayo kirala kyonna okujjako Allah omugulumivu.
3.Tawheed Al-Asma'e wa swifaat: okwawula Allah mu mannya ge n'ebitendo bye ebyo ebyayogerwaako mu qurane ne hadith za nabbi Muhammad, nga tewali kumugeza ku kintu kyonna yadde okumufananyiriza ekintu kyonna yadde okugaana ekimu ku bitendo bya Allah oba Amannya ge.
era n'obujulizi ku miteeko ja tawheed esatu:
ky'ekigambo kye Allah: Omufuzi w'eggulu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombiriri! N'olw'ekyo, musinze, ogumiikirize ku kumusinza. Abaffe omanyiiyo (omulala) afaanana Ye? [Suurat mariam: 65]

okwanukula: okugatta ku Allah omugulumivu.
Allah yagamba:
Mazima Allah tasosonyiwa oyo amugatta n'ebintu ebirala, naye asonyiwa kyonna ekitali ekyo ku oyo gw'ayagadde; n'omuntu agatta Allah n'ekintu ekirala, mazima aba agunzeewo ekibi ekisukkiridde. [Suurat An-Nisaa: 48]

okwanukula: Shiriki: ye muntu okwenkanya ekintu kyonna ne Allah , mu kumusinza, oba mubikolwa bye oba mu mannya n'ebitendo bye.
Era kigwa mu shiriki:
okwolekeza omuteeko gwonna mu miteeko gy'okusinza eri ekitali Allah.
Emiteeko gya shiriki:

-Shiriki omunene; nga okusaba ekitali Allah, oba okuvunnamira ekitali Allah, oba okusalira ekitali Allah.
-Shiriki omutono; era y'oyo shirik atafulumya mu ddiini, nga: okulayira ekitali Allah, oba okwambala yirizi, ne kabandabe omutono [nga okulongoosa eswala olwokuba abantu bakulaba].

Okwanukula:Teri amanyi byekwese okujjako Allah yekka.
Yagamba Allah:
Bagambe (Ggwe Muhammadi) nti: Tewali amanyi Bitalabikako mw'abo abali mu ggulu ne mu nsi wabula Allah; era tebamanyi kiseera ki lwe balizuukira. [suurat An-naml: 65]

okwanukula: empagi z'obukkiriza ziri mukaaga:
1- Okukkiririza mu Allah omugulumivu.
2- Ne bamalaika be.
3- N'ebitabo bye.
4- N'ababaka be.
5- N'olunaku lw'enkomerero.
6- N'okugera kwe, okulungi n'okubi.
Obujulizi:
hadith ya Jibriilu emanyikiddwa, eri mu kitabo kya Muslim, nti Jibriilu yagamba nabbi okusasira kwa Allah n'emirembe bibeere ku yye nti: "Mbuulira ku bukkiriza, Nabbi namugamba nti: kwe kukkiriza Allah, ne bamalaika be, n'ebitabo bye, n'ababaka be, n'olunaku lw'enkomerero, era n'okkiriza okugera kwe, okulungi n'okubi.

Okwanukula: Okukkiriza Allah: kwe kukkiriza nti Allah ye yakutonda, era y'akugabirira, era ye nannyini byonna, era yemuteesiteesi w'ebitonde yekka. Era y'asinzibwa, teri asinzibwa mu butuufu atali yye, era yenannyini kutonda n'ekiragiro, n'okulamula, n'okussaawo amateeka. byonna bibye tewali kimwegattako.
Era ye mugulumivu, omunene, omujjuvu, oyo alina amatendo gonna, era alina amannya amalungi, n'ebitendo ebyawagguli, talina kimufaanana kyonna yayawukana Allah.
Okukkiriza ba malaika:
Era nabyo bitonde Allah yabitonda mu kitangaala, bimusinza, n'okwewaayo okujjuvu eri ekiragiro kye.
Yagamba Allah:
( Wabula bo baddu abagulumizibwa * Tebamukulembera na kigambo (Kye kyonna), (wabula) nabo bakolera ku kiragiro Kye) [Al-Ambiya: 26-27].
Era ne Nabbi okusasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba nti:
(ba malaika batondebwa mu kitangala) Esangibwa mu kitabo kya Muslimu .
-Era mu ba malaika mulimu: Jibriilu, oyo akka n'obubaka nabutuusa ku banabbi. Allah yagamba: Era mazima Yo (Kuraane) kussa kwa Mukama W'ebitonde byonna * Yakka nayo Mwoyo Mutukuvu (Malaika Jibriilu) Omwesigwa * (Nga agissa) ku mutima gwo, olyoke obeere ow'omu batiisa * (Nga eri) mu lulimi oluwarabu olweyolefu) Al- shu-araa :192-195.
Okukkiririza mu bitabo:
Era nga by'ebitabo Allah byeyassa ku babaka be.
-Nga Quran: eyassibwa ku Muhammad okusasira n'emirembe bibere ku yye.
-Enjiri: eyassibwa ku Isa emirembe jibeere ku yye.
-Taurat: eyassibwa ku Musa emirembe jibeere ku yye.
-Zabuli: eyassibwa ku Dauda okusasira n'emirembe bibeere ku yye.
-Ekitabo ekyassibwa ku Ibrahim ne Musa emirembe jibeere ku bbo.
Okukkiririza mu babaka:
Be bo Allah beyatuma eri abaddu be babayigirize, era babasanyuse n'ekirungi n'ejjana, era babatiise n'ekibi n'omuliro.
era ab'enkizo mu bbo:
banannyini bumalirivu era be bano:
-Nuuhu Emirembe gibeere ku yye.
-Ibrahim emirembe gibeere ku yye.
-Musa emirembe gibeere ku yye.
-Isa emirembe gibeere ku yye.
-Muhammad okusasira n'emirembe bibeere ku yye.
Okukkiririza mu lunaku lw'enkomerero:
Nakwo kwekukkiririza mubulamu bw'omuntaana oluvannyuma lw'okufa, n'olunaku lwokuyimirira, n'olunaku lw'okuzuukira n'okubalwa, abantu b'omujjana lwebanatebenkera mu nju yaabwe, n'abomumuliro nabo babeere mu nju yabwe.
yagamba Allah omugulumivu:
{Buli mwoyo gwa kukomba ku kufa, ddala mazima mugenda kutuukirizibwa okusasulwa empeera zammwe ku Lunaku Lw'okuyimirizibwa (mu maaso ga Allah). N'omuntu yenna oyo alyesambisibwa Omuliro n'ayingizibwa Ejjana, mazima aliba yeesiimye, Tebuli obulamu obw'ensi wabula ekintu eky'eyagaza ekiseera buseera, ekigayaaza) [Suurat Aal-imraan:185]
okukkiririza mu kugera kwa Allah, okulungi, n'okubi:
Qadar: kwekukkiriza nti Allah amanyi buli kintu ekigwaawo mu nsi ne mu ggulu, era ebyo yabiwandiika ku lubaawo olukuumibwa, era yayagala okubaawo kwabyo n'abitonda.
Yagamba Allah omugulumivu:
Mazima Ffe buli kintu twakitonda na kukigerera (ku ngeri ekisaanira). [Suurat Al- qamar: 49]
-okugera kulimu emitendera ena:
Ogusooka: okumanya kwa Allah, omwo mulimu okumanya kwe okukulembera buli kintu, oluberyeberye nga ebintu tebinnabaawo, n'oluvanyuma nga bimaze okubaawo.
obujulizi kw'ekyo:
kya Allah omugulumivu: Mazima Allah w'ali we wali okumanya (ddi lwe kiribeerawo) Ekiseera Eky'enkomerero, era y'atonnyesa enkuba (w'aba asiimidde) era y'amanya ekyo ekiri mu nnabaana (oba kikazi oba kisajja n'ebirala ebikifaako). N'omwoyo tegumanyi kiki kye gunaafuna enkya, era omwoyo tegumanyi nsi ki mwe gulifiira, mazima Allah Mumanyi nnyo, Amanyi ebyokungulu n'ebyomunda) [ suurat Luqmaan:34]
Ogw'okubiri: nti ebyo byonna Allah yabiwandiika ku lubaawo olukuumibwa, buli kintu ekyabaawo n'ekiribaawo byonna Allah yabiwandiika mu kitabo.
obujulizi kw'ekyo:
kye kigambo kya Allah omugulumivu: (Ne gy'ali y'eri ensumuluzo z'eby'ewala ebitalabikako, tewali abimanyi wabula Ye. Era Amanyi ebyo ebiri ku lukalu ne mu nnyanja. Era tekagwa akakoola konna wabula Akamanyi; era tewali mpeke eri mu bizikiza by'ettaka wadde ekibisi oba ekikalu wabula (byonna) biri mu Kitabo ekinnyonnyola) [Suurat Al-an'am: 59]
Ogw'okusatu: buli kintu kibaawo na kwagala kwa Allah, era teri kintu kibaawo okuva mu yye oba mubitonde bye okujjako nga kibaawo na kwagala kwe. era omuddu alina okusalawo, era alina okwagala, naye okwagala kwe tekusobola kubaawo okujjako oluvannyuma lw'okwagala kwa Allah.
obujulizi bw'ekyo:
kye kigambo kya Allah: Eri oyo ayagala mu mmwe okulunngama 28 Temuyinza kwagala, wabula nga Katonda Omulezi w’ebitonde ayagadde 29) [Suurat Al-tak-wiir:28-29].
Ogw'okuna:
Okukkiriza nti byonna ebiriwo Allah ye yabitonda, era n'atonda n'ebitendo bya byo, n'entambula zaabyo, na buli kintu kyonna mu byo.
Obujulizi bw'ekyo:
kye kigambo kya Allah: {Nga Allah Ye yabatonda n'ebyo bye mukola?-(n'olwekyo Allah y'ateekwa okusinzibwa }. [Suurat Al-swaffaat:96]

Okwanukula: Bigambo bya Allah, era ssi kitonde.
Yagamba Allah omugulumivu:
(Bw'abeera omu mu bagatta ku Allah nga akusabye obubudamu (Ggwe Muhammadi), bumuwe okutuusa lw'awulira ebigambo bya Allah) [Suurat Attauba].
Era kyajja mu hadith:
«Era n'enkizo y'ebigambo bya Allah ku bigambo ebisigadde, eri nga enkizo ya Allah ku bitonde bye.» Esangibwa mu kitabo kya Tirmidhi .

Okwanukula:Buli kigamba kya Nabbi Muhammad okusasira n'emirembe bibere ku yye, oba ekikolwa kye, oba okukakasa kwe ensonga, oba ekitendo kye mumpisa oba mu butonde bwe.

Okwanukula: Buli abantu kyebazuulawo mu ddiini nga tekyaliwo ku mulembe gwa nabbi Muhammad okusasira n'emirembe bibere ku yye, ne ba swahaba be.
Tetumukkiriza, era kitukakatako okumulwanyisa .
Olw'ekigambo kya Nabbi okusasira n'emirembe bibere ku yye:
«Buli kizuule mu ddini bubuze» Esangibwa mu kitabo kya Abu daud.
n'ekigambo kya Nabbi okusasira n'emirembe bibeere ku yye:
«Yenna akola omulimu nga teguliko kiragiro kyaffe, omulimu ogwo gumuddizibwa» Esangibwa mu kitabo kya muslim.
Eky'okulabirako:
Okwongera mu Ibaada, nga okwongera omulundi ogw'okuna mu kufuna wudhu, okukuza Amazalibwa ga Nabbi, tebyava ku Nabbi yadde ba swahaba be.

Okwanukula:Alwala'u: kwe kwagala abakkiriza n'okubataasa.
Yagamba Allah omugulumivu:
(N'abakkiriza abasajja N'abakkiriza abakyala abamu mu bo mikwano gya bannaabwe) [Suurat At-Tauba:71].
Al-bara'u: kwe kunyiigira abatali basiramu, n'okubakyawa.
Yagamba Allah:
(Mazima mwalina eky’okugoberera ekirungi (ddala) mu (Nabbi) Ibrahiimu n’abo abaali awamu naye, mu kiseera bwe baagamba ekibiina kyabwe nti: Mazima ffe tubaawukanyeeko (era twesambye) ne kw’ebyo bye musinza ebitali Allah: Tubawakanyizza, era bumaze okweyoleka obulabe n’obukyaayi wakati waffe nammwe obw’olubeerera okutuusa lwe munakkiriza Katonda (ali Omu Oyo) yekka) [Suurat Al-mumtahana:4].

Okwanukula: Allah takkiriza diini etali busiraamu.
Yagamba Allah:
{N'omuntu anoonya obutali Busiraamu okugifuula eddiini, ssi ya kukkirizibwa kuva gy'ali, naye ku Lunaku lw'Enkomerero aliba wa mu bafaafaaganiddwa} [Suurat Aal-Imran 85].

Eky'okulabirako ky'ekigambo: Okuvuma Allah oba Omubaka we okusasira n'emirembe bibeere ku yye.
Eky'okulabirako ky'omulimu:
Okukakkanya Quran, oba okuvunnamira ekitali Allah.
Eky'okulabirako ky'enzikiriza:
Okukkiriza nti waliyo asaanidde okusinzibwa atali Allah, oba nti Waliyo omutonzi atonda ne Allah.

1- Obunanfuusi obunene: kwekukweeka obukaafiiri, ate n'oyolesa obukkiriza.
Era bufulumya omuntu mu busiraamu, era bukaafiiri bunene.
Yagamba Allah:
(Mazima abannanfuusi balibeera mu muko ogukomererayo wansi mu muliro; era togenda kubafunira mutaasa) [Suurat Al-nisaa:145]
2- Obunnanfuusi obutono: Okugeza nga: Okulimba, okwawukana ku ndagaano, n'okukumpanya.
Tebujja mu busiraamu, era bubalibwa mu mazambi, ne nnyini bwo aba ayolekedde okubonerezebwa.
Yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye:
[Obubonero bw'omunnanfuusi buli busatu: bw'anyumya alimba, bw'akola endagaano agyawukanako, era bw'aba yeesigiddwa akumpanya] Yayogerwa Bukhari ne muslim

Okwanukula:
ye Muhammad okusaasira kwa Allah n'emirembe bibere ku yye.
Yagamba Allah:
{Tabeeranga Muhammadi kita w'omo mu basajja mu mmwe, naye ye mubaka wa Allah era ye w'enkomerero mu ba Nabbi.......} [Suurat Al-ahzaab: 40].
Yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye:
«Era nze nabbi ow'enkomerero, tewali nabbi luvannyuma lwange » Yayogerwa Abu dauda, ne Tirmidhi n'abalala

Okwanukula:Eky'amagero: Buli Allah kyeyawa ba Nabbi be nga sikyaabulijjo, kijulire amazima gabwe.
okugeza:

-Okubejjukamu kw'omwezi kulwa Nabbi okusasira n'emirembe bibeere ku yye. Allah yagamba: {Enkomerero esemberedde okutuuka n'omwezi ne gubejjukamu * Bwe baba nga balabye eky'amagero baawukana (ku kukikkiriza), ne bagamba nti: Eryo ddogo (lya Muhammadi) lya lubeerera * (Bwe batyo) ne balimbisa (Amazima) ne bagoberera okwagala kwabwe. Sso nga buli kigambo kirina obutebenkero bwakyo} [Al-Qamar 1-3]
-N'ennyanja okweyawulamu ku lwa Musa emirembe gibeere ku yye, n'okuzikirira kwa Falawo n'amaje ge. Yagamba Allah: (Era mujjukire ekiseera bwe Twayawulayawula mu Nnyanja ku lwammwe ne Tubawonya, ne Tusaanyaawo abantu ba Fir'auna nga nammwe mutunula) [Suurat Al-baqara: 50]

Swahaba: y'oyo eyasisinkana nabbi Muhammad (okusasira kwa Allah n'emirembe bibeere ku yye), nga amukkiririzaamu, era n'afiira ku busiraamu.
kitukakatako okubaagala, n'okubagoberera, era bebantu abasinga obulungi n'enkizo oluvannyuma lwa ba Nabbi.
Era ab'enkizo mu bo:
be basika ba Nabbi abana:
Abubakar (Allah amusiime).
Umar (Allah amusiime).
Uthman(Allah amusiime).
Ali(Allah amusiime).
Allah yagamba nga ayogera ku ba swahaba(Allah abasiime bonna): (N'abaakulembera abaasooka (mu Busiraamu), mu Basenguse n'Abaataasa, n'abo abaabagoberera mu kukola obulungi- Allah Yabasiima nabo ne bamusiima, n'abategekera Ejjana nga gikulukuta wansi waayo emigga, bakutuula mu yo obugenderevu n'obugenderevu. Okwo kwe kwesiima okusukkirivu) [At-Tauba :100]

okwanukula:be bakyala ba Nabbi Muhammad(Okusaasira n'emirembe bibeere ku yye).
Yagamba Allah omugulumivu:
{Nabbi y'asinga okukakatirwa okwagalibwa abakkiriza okusingako okweyagala (bo bennyini) ne bakyala be bannyaabwe (mu ddiini)}. [Suurat Al-ahzaab:6]

Okwanukula:Tubaagala, netubafuula mikwano gyaffe, netunyiigira yenna abanyiigira, era tetubasussa webalina kukoma.Era nga nabo be bakyala be, n'abaana be, n'abenju ya Hashim, ne mutwalibi Abakkiriza.
yagamba Allah omugulumivu:
{Mazima Allah ayagala abajjeko mmwe ebibi (Abange Mmwe) abo munnyumba ya Nnabbi, (era) abatukuze olutukuza}. [Al-Ahzaab 33].
Ne mu hadiith ya Nabbi (okusasira n'emirembe bibere ku yye) yagamba: (Mbajjukiza Allah ku bantu b'enju yange, mbajjukiza Allah ku bantu b'enju yange, mbajjukiza Allah ku bantu b'enju yange)
amakulu nti mubayise bulungi, era mubawe n'ekitiibwa kyabwe ekibasaanira. Yayogerwa Muslim.

okwanukula:Ekitukakatako: kubawa kitiibwa, okuwulira n'okubagondera mu butali bujeemu, okubasabira, n'okubabuulirira mu kyama, n'obutabeewagulako okujjako nga tubalabye ko ekikolwa ky'obukafiri ekyeyolefu.
Yagamba Allah omugulumivu:
{ Abange mmwe abakkiriza! Mugondere Allah n'Omubaka We, ne bannannyini Buyinza mu mmwe; bwe mubanga mukaayanye mu kintu , mukizzenga eri Allah n'Omubaka We, bwe mubeera nga mukkiriza Allah n'Olunaku Lw'enkomerero: Ekyo kye kirungi era ge magoba agasinga obulungi } [An-Nisaa: 59]

Okwanukula: Ejjana, yagamba Allah omugulumivu: {Mazima Allah aliyingiza abo abakkiriza ne bakola emirmu emirungi Ejjana (mwe balibeera) nga emigga gikulukutira wansi waayo} [Suurat Muhammad:12]

Okwanukula:Omuliro, yagamba Allah: (Mutye omuliro ogwo, okukumwa kwagwo gukumirwa ku bantu n'amayinja, gwateekerwateekerwa abatakkiriza). [Suurat Al-Baqara: 24]

Okwanukula:Al-khaufu: kwe kutya Allah, n'okutya ebibonerezo bye.
Al_raja'u:
kwe kululunkanira empeera za Allah, n'okusonyiwa kwe, n'okusaasira kwe.
Obujulizi:
Kigamba kya Allah omugulumivu: Abo be basaba (nga basinza), nga banoonya ekkubo eri batuusa eri Mukama waabwe (nga balinga abavuganya wakati waabwe bokka na bokka, buli omu nga ayagala abeere) asinga okuba okumpi (ne Allah): ne basuubira okusaasira Kwe nga batya ebibonyobonyo Bye. Mazima ebibonerezo bya Mukama wo byali (ebiteekwa ) okwekekwa (okuviira ddala oluberyeberye). [Suurat Al-Israa: 57]
Era Allah n'agamba: {Tegeeza (Ggwe Muhammadi) abaddu Bange (nti): Mazima Nze Musonyiyi, Omusaasizi(49) era mazima ddala ebibonyobonyo byange byo bibonyobonyo ebiruma enyo(50)} [suurat Al-hijir: 49-50].

Okwanukula: Allah, Al-rabb, Al-rahman, Al-sami'u, Al-baswiiru, Al-aleemu, Al-razzaaq, Al-hayyu, Al-adhwiimu, Al-hakiimu,....n'amala Amanya ga Allah n'ebitendo bye ebyawaggulu.

okwanukula:Allah: Amakulu, asinzibwa mu butuufu bwokusinzibwa, mu bwomu bwe talina kimwegattako.
-Al-rabb: omutonzi, omufuzi, omugabirizi, ateekateeka ensonga zonna yekka eyayawukana.
-Al-sami'u: oyo okuwulira kwe okwabuna buli kintu, awulira amaloboozi gonna mu bika byago.
-Al-baswiir: Oyo alaba buli kintu, era alaba buli kitono oba ekinene.
-Al-aliimu: Y'oyo okumanya kwe okwetolola buli kintu. ebyayita, ebiriwo, n'ebyomumaaso.
-Al-rahman: Omusaasizi, oyo okusasira kwe okwabuna buli kitonde na buli kiramu, Abaddu bonna n'ebitonde byonna biri wansi w'okusaasira kwe.
-Al-razzaak: Omugabirizi, oyo agabirira ebitonde byonna mu abantu, amajinni, na buli kitambula.
-Al-hayyu: Omulamu oyo atafa, ate nga ebitonde byonna bifa.
-Al-adhwiimu: Oyo alina obujjuvu bwonna, n'obugulumivu bwonna, mu mannya ge, n'ebitendo bye n'ebikolwa bye.
-Al-hakeemu: Oyo ayatuukiriza ebitonde bye, n'abiwunda, era alina ekigendererwa mu kutonda kwe n'ekiragiro kye.
-Al-hikma (Amagezi): kwe kuteeka ebintu webisanidde okubeera.

Okwanukula: Okubaagala, era netubeebuuzaako ku nsonga eziba ziguddewo mu ddiini, netubogerako birunji, era abogerako ekibi aba tali ku nkola ntuufu.
-Allah yagamba: Allah akusitula abo abakkiriza mu mmwe (abawe amadaala agabasaana n’ekitiibwa) n’abo abaweebwa Okumanya balina amadaala (agasingako). Ne Allah Amanyi ebyama by’ebyo bye mukola) [Suurat Al- Mujaadila :11].

Okwanukula: be bakkiriza abatya Allah abagoberera enkola ya nabbi Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye.
Yagamba Allah:
(Abange mazima abaagalwa ba Katonda tebalina bo kutya, era tebali bo bakunakuwala 62 Abo abakkiriza nebaba nga batya ne Allah 63) [Suurat yuunus: 62-63].

Okwanukula: Obukkiriza bigambo, namirimu, nanzikiriza, kuba kwogera n'olulimi, n'okukkiriza n'omutima, nokukola n'ebiyungo.
Kwe kwatula n’olulimi, n'okukkiriza n’okukola n’omutima n’okukola n’ebitundu by’omubiri.
Mu hadith eva ku Abi huraira nga ajiggya ku Nabbi okusasira n'emirembe gibere ku yye yagamba nti:
''Obukkiriza bulimu amadaala wakati w'ensavu mu asatu n'ensanvu mu mwenda, oba nkaaga mu asatu n'enkaaga mu mwenda, nga neddaala erisinga enkizo ky'ekigambo LA ILAAHA ILLA LLAHU, n'erisembayo wansi kwe kujjawo ekinyiiza mu kkubo, n'ensonyi ddaala mu madaala g'obukkiriza'' Yayogerwa Muslim.

Okwanukula: Imani erinya nakugondera Allah, era ekka nakumujeemera.
yagamba Allah:
Mazima abakkiriza (Abaddala) be bo bw'aba nga Ayogeddwako Allah emyoyo gyabwe gitya, era bwe biba nga bibasomeddwa ebigambo Bye kibongera obukkiriza, era nga beesigamira Mukama waabwe. [suurat Al-anfaal: 2].

Okwanukula: kwekusinza Allah nga olinga amulaba, newankubadde tomulaba mazima yye akulaba.

Okwanukula: Gikkirizibwa n'obukwakkulizo bubiri:
1- kwekuba nga omulimu ogukoze ku lwa Allah.
2- okuba nga ogoberedde enkola ya nabbi okusasira n'emirembe bibeere ku yye.

Okwanukula: Kwe kwesigamira ku Allah mukunoonya ebyetaago ne mukuziyiza ebikosa, owamu n'okuteekawo ensonga ezikutuusa kw'ekyo
Yagamba Allah omusukkulumu:
{N'omuntu ayesigamira Allah, naye amumala mu byonna } [Suurat At-Talaaq:3].
Hasbuhu:
amakulu nti Amumala.

Okwanukula: Ekirungi: kwekulagira buli kikolwa eky'okugondera Allah, ate Ekibi: okuziyiza buli kikolwa eky'okugyemera Allah. Okuziyiza ekibi: kwekugaana buli kikolwa ky'okujeemera Allah.
Yagamba Allah:
{Mwali (mmwe abagoberezi ba Muhammadi) ekibiina ekisingayo obulungi ekyaggyirwayo abantu (b'ensi yonna). Mulagira empisa ennungi ne mugaana ebyagaanibwa; era ne mukkiriza Allah} [Suurat Aal-Imraan:110].

Okwanukula: Be bo abali kw'ekyo nabbi Muhammad(okusasira kwa Allah n'emirembe bibere ku yye) , ne ba swahaba be kyebaliko, mu bigambo, n'emirimu n'enzikiriza.
-Bayitibwa ba Ahlu sunnah: Olw'okugoberera kwabwe enkola za Nabbi(okusasira n'emirembe bibere ku yye), n'okulekayo okuzuula mu ddiini.
-Era nebayitibwa Jama'a: olwokubanga beegattira ku mazima nebatagawukanamu.
-Yagamba nabbi okusasira n'emirembe bibeere ku yye: (Mazima Abaana ba isirayiri bayawukanamu mu ebibinja nsanvu mu bibiri, ate ekibiina kyange kyakwawukanamu ebibinja nsavu mu bisatu, byonna bya mu muliro, okujjako ekibinja kimu, nebagamba ba swahaba nti kyekiriwa omubaka wa Allah? n'agamba: ekyo ekiri ku nkola yange ne ba swahaba bange). Yayogerwa Tirmidhi.