Ekitundu kya tafsiiri (okuvvunula quran).

Okwanukula: Suurat Al-faatiha, n'okuginnyonnyola .
🎧 ﴾Bismillahi rrahmani rrahiim 1 🎧 Alhamdulillahi rabil-aalamiin 2 🎧 Arrahmaani rrahiim 3 🎧 Malaiki yaumi ddiin 4 🎧 Iyyaaka na-abudu wa iyyaaka nasta-iin 5 🎧 Ihdina sswiraatwal-mustaqiim 6 🎧 Swiraatwa lladhiina an-amta alaihim ghairil-maghdhuubi alaihim wala dhwaalliin 7) [Suurat Al-faatiha :1-7].
Okunnyonnyola:

Yatuumibwa Suurat al-faatiha, olwokuba yeggulawo ekitabo kya Allah.
1.(Bismillahi rrahmani rrahiim) Ntandika n'erinnya lya Allah okusoma Qur’an, nga nnoonya obuyambi n’emikisa gye nga njogera erinnya lye.
(Allah) Amakulu: Asinzibwa mu butuufu bwokusinzibwe, ra erinnya lino teriyitibwa atali Allah.
(ARRAHMAAN).
amakulu:
Nannyini kisa ekigazi, ekyabuna buli kintu.
(ARRAHIIM).
Amakulu:
Ow'ekisa eri abakkiriza.
2. (Alhamdu lillahi rabbil-aalamiin). Amakulu:
amatendo gonna n'obujjuvu bya Allah yekka.
3. ﴾Arrahmaani rrahiim).
Amakulu:
Oyo alina okusaasira okugazi okuzingiramu buli kimu, era y'alina okusaasira okutuuka ku bakkiriza bokka.
4. (Maaliki yawmi ddiin)
Nannyini buyinza
yekka ku lunaku lw'okusasula (olunaku lw'enkomerero). Lwe lunaku lw'enkomerero.
5.{ Iyyaaka na'budu wa iyyaaka nasta'iin}. Gwe wekka gwe tusinza era ggwe wekka gwetusaba okutuyamba.
6.{Ihdina sswiratwal-mustaqiim}. Tulungamye mu kkubo eggolokofu, nga nakwo kwekulungamya okudda eri obusiramu n'enkola ya nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuye
7.{Swiratwa lladhiina an-amta Alaihim, ghairil maghdhuubi Alaihim Wala dhwaalliin 7} Ekkubo ly'abaddu ba Allah abalongoofu mu ba Nabbi, n'abaabagoberera, eritali kkubo lya ba kurisitaayo nabayudaaya.
Kirungi okugamba oluvannyuma lw'okusoma Al-faatiha nti:(Aamiin), amakulu nti ayi Allah yanukula.

Okwanukula: Suurat Az-Zalzalah n'okuginnyonnyola :
🎧 Bismillahi rrahmani rrahiim
🎧 (Itha zulzilatil-ardu zilzaalahaa 1 🎧 Wa akhrajatil-ardhu athqaalahaa 2 🎧 Wa qaalal-insaanu maa lahaa 3 🎧 Yauma-ithin tuhaddithu akhbaarahaa 4 🎧 Bi-anna rabbaka auhaa lahaa 5 🎧 Yauma-ithin yasduru nnaasu ashtaatan liyurau a-amaalahum 6 🎧 Faman ya-amal mithqaala dharratin khairan yarahu 7 🎧 wa man ya-amal mithqaala dharratin sharran yarahu 8) [Surat Azzalzalah: 1-8].
Okunyonnyola:

2.{Itha zulzilatil-ardu zilzaalahaa 1}: Ensi bw'eribeera nga eyuuguumiziddwa oluyuuguumizibwa olw'amaanyi olugenda okutuukawo ku lunaku lw'enkomerero.
2.{Wa akhrajatil-ardhu inshallaha 2}: N'efulumya era n'ejjayo ebiri munda mwayo ng'abafu n'ebirala.
3.{Wa qaalal-insaanu maa lahaa 3}: Omuntu aligamba ng'awuniikiridde: kiki ekituuse ku nsi okubeera nga ekankana era eyuuga?!
4.﴾Yauma-ithin tuhaddithu akhbaarahaa 4﴿: Ku lunaku olwo Ensi ejja kwogera ebyagikolerwangako ebirungi n'ebibi.
5.﴾
Bi-anna rabbaka auhaa lahaa 5﴿ Kubanga Allah agimanyisizza era n'ajiragira.
6.﴾
yauma-idhin yasduru nnaasu ashtaatan liyurau a-amaalahum6 ﴿ Ku lunako olwo olukulu ensi mw'egenda okuyuuguumizibwa abantu bajja kuva mu kifo ky'okubalibwamu nga bali mu bibiinja balabe emirimu gyabwe gyebaakolanga ku nsi.
7.﴾
Faman ya-amal mithqaala dharratin khairan yarahu 7﴿: Oyo yenna eyakola omulimu kagube mutono tutya ngamulungi ajja gulaba mu maaso ge.
8.{wa man ya-amal mithqaala dharratin sharran yarahu } Yenna eyakola omulimu kagube mutono gutya nga mubi ajja ggulaba mu maaso ge

Okwanukula: Suurat Al-aadiyaat n'okunnyonnyola kwayo:
🎧 Bismillahi rrahmani rrahiim.
🎧 {Wal-aadiyati dhwabehan 1 🎧 Falmuuriyaati qadehan 2 🎧 Falmughiiraati subehan 3 🎧 Fa-atharna bihii naq-an 4 🎧 Fawasatna bihii jam-an 5 🎧 Innal-insaana lirabbihii lakanuud 6 🎧 Wa innahu alaa dhaalika lashahiid 7 🎧 Wa innahuu lihubbil-khairi lashadiid 8 🎧 Afala ya-alamu idhaa bu-uthira maa fil-qubuuri 9 🎧 Wahusswila ma fi ssudoori 10 🎧 Inna rabbahum bihim yama-ithin lakhabiir 11 [Suurat Al-aadiyaat: 1-11].
Okunnyonnyola:

1.{Wal-aadiyaati dhwabehan 1}
: Allah yalayira embalaasi ezidduka nezituuka n'okuvaamu amaloboozi olw'emisinde.
Falmuuriyaati qadehan 2 N'alayira embalaasi ezikoleeza n'ebinuulo bya zo omuliro nga birinnye ku njazi nga kiva ku kuzirinnyako n'amaanyi.
3. Falmughiiraati subehan 3 N'alayira embalaasi ezizinda abalabe mu kiseera ky'okumakya.
4. {Fa-atharna bihii naq-an 4}: Ne zisiikuula enfuufu kulw'okudduka kwa zo.
5.{Fawasatna bihii jam-an 5}: Ne zibeera n'abazira abazeebagadde wakati w'ebibinja by'abalabe.
6.{Innal-insaana lirabbihi lakanuud 6}: Mazima omuntu mummi wa birungi omulezi we by'amwagalamu.
7. Wa innahuu Alaa dhaalika lashahiid 7 Era ye mu kumma ebirungi yewaako obujulizi, tasobola ku kiwakanya.
8. {Wa innahuu lihubbil-khairi lashadiid 8}: Era mazima ye olw'obuyitirivu bw'okwagalakwe emmaali agikodowalira.
9. {Afalaa ya-alamu idhaa bu-uthira maa fil-qubuur 9} Omuntu ono, alimbibwa obulamu obw’ensi, tamanyi nti Allah bw’anaazuukiza abafu mu ntaana n’abajja mu nsi okubabala n’okubasasula, ensonga tezijja kuba nga bwe yalowooza.
10. {Wahusswila maa fi ssuduur 10}: nebyolesebwa ebiri mu mitima mu bigendererwa, enzikiriza n’ebirala.
11.{Inna rabbahum bihim yauma-ithin lakhabiir 11}: Mazima omulezi waabwe ku lunaku olwo amanyi, talina mu nsonga z'abaddu be egenda kumwekwekako, era ajja kuzibasasula.

Okwanukula: Suurat Al-qaari-ah n'okunyonnyola kwayo:
🎧 Bismillahi rrahmani rrahiim.
🎧 (Al-qaari-ah 1 🎧 Mal-qaari-ah 2 🎧 wa maa aderaaka mal-qaari-ah 3 🎧 yauma yakuunu nnaasi kal-faraashil-mabethuuth 4 🎧 Wa takuunul-jibaalu kal-ihnil-manfuush 5 🎧 Fa ammaa man thaqulat mawaaziinuh 6 🎧 Fahuwa fii iishati rraadhwiyah 7 🎧 Wa ammaa man khaffat mawaazinuh 8 🎧 Fa ummuhuu haawiyah 9 🎧 Wa maa aderaaka ma hiyah 10 🎧 Naarun haamiyah 11} [Suurat al-qaari-ah: 1-11].
Okunnyonnyola:

1. {Al-qaari-ah} 1: Esaawa ey'ekikonkona emitima gy'abantu olw'entiisa yaakyo ennene.
2. {Mal-qaari-ah 2}: Ekiseera ekikonkonkona emitima gy'abantu olw'entiisa yaakyo ennene kyekiruwa?!
3. {wa maa aderaaka mal-qaari-ah 3}: Kiki -owange ggwe omubaka- ekiyinza okumanyisa ekiseera ekikonkonkona emitima gy'abantu olw'entiisa yaakyo ennene?! Mazima kkyo lwe lunaku lw'enkomerero.
4. yauma yakuunu nnaasi kal-faraashil-mabethuuth 4 Olunaku emitima gy'abantu lwe girikonkonebwa bajja kubeera nga ebiwojjolo ebisaasaanye ebikunkumuse wano nawali.
5.{Wa takuunu Al-jibaalu kal-ihnil-manfuush} 5 Ate ensozi zibeere nga ebyoya byebakoonyekoonye mu kuwewuka kw'okutambula kwazo n'okujjulukuka kwazo.
6.{Fa ammaa man thaqulat mawaaziinuh 6}: Ate oyo ebikolwa bye ebirungi bwebilisinga ebikolwa bye ebibi.
7. {Fahuwa fii iishatin raadhiyah 7}: Yye w'akubeera mu bulamu obwesiimisa bw'alifuna mu Jjanah.
8. ﴾Wa ammaa man khaffat mawaazinuhu 8﴿:- Ate oyo ebikolwa bye ebibi bwebilisinga ebikolwa bye ebirungi.
9. ﴾
Fa ummuhu haawiyah 9﴿: Amakage n'obuddo bwe ku lunaku lw'enkomerero muliro Jahannama.
10. {Wa maa aderaaka ma hiyah 10}: Kiki -owange ggwe omubaka- ekiyinza okumanyisa Jahannama kyekki?!
11. Naarun haamiyah 11)
Gwe muliro ogwokya ennyo.

Okwanukula: Suurat At-takathur n'okunyonnyola kwayo:
🎧 Bismillahi Al-rrahmani rrahiim.
🎧 {ALhaakumu ttakaathur 1 🎧 Hattaa zurtumul-maqaabir 2 🎧 Kallaa saufa ta-alamuuna 3 🎧 Thumma kallaa saufa ta-alamuuna 4 🎧 Kayla law ta-alamuuna ilmal-yaqiini 5 🎧 Latarawunnal-jahiim 6 🎧 Thumma latarawunnahaa ainal-yaqiini 7 🎧 Thumma latus-alunna yauma-idhin aninna-iim 8﴿ [Suurat At-takaathur: 1-8].
Okunyonnyola:

1.{Alhaakumu ttakaathur 1}
Kubalabankanyizza -abange abantu- ne kubajja ku kugondera Allah okwewaana n'emmaali n'abaana.
2. {Hattaa zurtumul-maqaabir 2}: Okutuusa nga mufudde ne muyingira entaana zammwe.
3. {Kallaa saufa ta-alamuuna 3}: Nedda okwewaana n'ebyo tekubagwanidde kubalabankanya ku kugondera Allah, kyaddaaki mujja kumanya enkomerero y'okulabankana okwo.
4. {Thumma kallaa saufa ta-alamuuna 4}: Oluvannyuma kyaddaaki mujja kumanya enkomerero yaakwo.
5. {Kallaa law ta-alamuuna ilmal-yaqiin 5}: Kikakafu singa mumanyi okumanya okw'okwekkaanya nti mazima mujja kuzuukizibwa mudde eri Allah, era mazima ye ajja kubasasula emirimu gyammwe, temwalirabankanye nakwewaana na maali n'abaana.
6. {Latarawunnal-jahiim 6}: Ndayira mazima ddala mujja kulaba omuliro ku lunaku lw'enkomerero.
4. Thumma latarawunnahaa ainal-yaqiin 7 Oluvannyuma mujja kugulabira ddala olulaba olwannamaddala olutaliimu kubuusabuusa.
﴾Thumma latus-alunna yauma-idhin aninna-iim ﴿: Oluvannyuma Allah ajja kubabuuza ku lunaku olwo ku byengera bye yabagabirira ng'obulamu, obugagga, n'ebirala.

Okwanukula: Suurat Al-asr n'okunnyonnyola kwayo:
🎧 Bismillahi rrahmani rrahiim.
🎧 {Wal-asr 1 🎧 Innal-insaana lafii khusr 2 🎧 Illa alladhiina aamanu wa amilu sswaalihaat, wa tawaaaswau bil-haqqi, watawaaswawu bisswabr 3) [Suurat Al-asr :1-3].
okunnyonnyola:

1. (Wal-asr 1 Yalayira Allah ekiseera.
2.{Innal-insaana lafii khusr 2}: Mazima ddala omuntu yenna gy’ava yenkana ali mu bukendeevu nakuzikirira
3. Illa alladhiina aamanuu wa amilu sswaalihaat, wa tawaaswaw bil-haqqi, watawaaswawu bisswabr 3)
Okujjako abo abakkiriza Allah (mu nzikiriza entuufu) ate ne bakola e mirimu emirungi, era ne balaamirigana okukoleranga ku mazima era ne balaamiragana okubeera abagumikiriza abo be bagenda okuwona okfaafaagana.

Okwanukula: Suurat Al-humaza n'okunnyonnyola kwayo:
🎧 Bismillahi rrahmani rrahiim.
🎧 {wailu llikulli humazati llumazah 1 🎧 Alladhii jama-a maalan wa addadah 2 🎧 Yahsabu anna maalahuu akhladah 3 🎧 kallaa layumbadhanna fil-hutwamah 4 🎧 wa maa aderaaka mal-hutwamah 5 🎧 Naaru 'llaahil-muuqadah 6 🎧 Allatii tatwali-u alal-af-idah 7 🎧 innahaa alaihim mu-uswadah 8 🎧 {Fii amadi mmumaddadah 9} [Suurat Alhumazah: 1-9].
Okunnyonnyola:

1. {wailu llikulli humazati llumazah 1}: Akabenje n'ebibonerezo ebiyitirivu by'oyo omuyitirivu w'okugeya abantu n'okubakkakanya.
2. {Alladhii jama-a maalan wa addadah 2}: Oyo nga ebirowoozo bye kukunngaanya maali n'okujibala, talina ky'alowooza kirala okujjako ekyo.
3.{Yahsabu anna maalahuu akhladah 3}: Alowooza nti emmaaliye gyeyakunngaanya ejja ku muwonya okufa, asigalewo lubeerera mu bulamu obw'ensi.
4.{Kallaa layumbadhanna fil-hutwamah 4}: Nedda tekiri nga bw'akiraba oyo atategeera, mazima waakukanyugibwa mu muliro Jahannama ogwo ogukoona era negumulungula kyonna ekigusuulibwamu olw'obuyitirivu bw'akabenje kaagwo.
5. {Wa maa aderaaka mal-hutwamah 5}: Kiki ekiyinza -owange Omubaka- okukumanyisa omuliro ogukoona ne gumulungula kyonna kyonna ekigusuulibwamu?!
6. Naaru 'llahil-muuqadah 6 Mazima ddala gwo muliro gwa Allah ogwakumibwa.
7. Allatii tatwali-u alal-af-idah 7 Ogwo oguyita mu mibiri gy'abantu negutuuka ku mitima gyabwe.
8.{Innahaa alaihim mu-uswadah 8}: Mazima ggwo gw'asaanikibwa ku bagubonerezebwamu.
9. {Fii amadi mmumaddadah 9}: Guli mu midumu emiwanvu sibagufuluma mu.

Okwanukula: Suurat Al-fiil n'okuginnyonnyola :
🎧 Bismillahi rrahmanii rrahiim.
🎧 {Alam tara kaifa fa-ala Rabbuka bi aswhaabil-fiil 1 🎧 alam yaj-al kaidahum fii tadhliil 2 🎧 Wa arsala alaihim twairan abaabiil 2 🎧 Tarmiihim bihijaarati mmin sijjiil 4 🎧 faja-alahum ka- aswfin ma-akuul 5) [Suurat Al-fiil :1-5].
Okunnyonnyola:

1 {Alam tara kaifa fa-ala Rabbuka bi aswhaabil-fiil 1}
: Owange Omubaka- tewategeerako engeri omulezi wo gyeyakola Abraha ne banne bannannyini njovu ekiseera webaayagalira okumenya Kaaba?!
2.{Alam yaj-al kaidahum fii tadhliil 2}: Mazima Allah yafuula entekateeka zaabwe embi ez'okujimenya nezoonooneka obusa, tebaafuna kyebaayagala oky'okuwugula abantu ku Kaaba, tebalina kyebaafuna mukyo n'akatono.
3. {Wa arsala alaihim twairan abaabiil 2}: N'abasindikira obunyonyi obwajjira mubibinja.
4. {Tarmiihim bihijaaratin min sijjiil 4}: Nga bubakanyugira amayinja ag'ebbuumba.
5. {Faja-alahum ka aswfi mma-akuul 5}: N'abafuula ng'ebikoola by'ebimera ebiriiriddwa ebisolo ne bibirinnyirira.

Okwanukula: Suurat Quraish n'okunnyonnyola kwayo:
🎧 Bismillahi rrahman rrahiim.
🎧 {Li-iilaafi Quraish 1 🎧 iilafihim rihlata shitaa-i wasswayiif 2 🎧 Fal-ya-abuduu Rabba hadhal-bait 3 🎧 {Alladhii atw-amahum min juu-in wa-aamanahum min khauf 4} [Quraish: 1-4].
Okunyonnyola:

1. ( Li-iilaafi Quraishi 1): Kitegeeza baakolanga mu kutambula mu biseera by’obutiti n’eby’ekyeeya.
2. {iilafihim rihlata shitaa-i wasw-swaif 2 Okusitula okutambula mubutiti okugenda e Yemeni n'okusitula okutambula mu kyeya okugenda e Shaami nga bali mirembe (batebenkevu).
3. Fal-ya-abuduu rabba hadhal-bait 3 N'olw'ekyo basinze nannyini nnyumba eno ey'emizizo yekka, oyo ayabanguyiriza olugendo olwo, baleme kumugattako kintu kyonna.
4.(Alladhii atw-amahum min juu-in wa aamanahum min khaufi 4) Oyo abaliisa mu njala, n'abawonya okutya, olw'ekyo kyeyateeka mu mitima gy'abawarabu eky'okugulumiza Kaaba n'okuwa ekitiibwa abatuuze baayo.

Okwanukula: Suurat al-maa-uun n'okuginnyonnyola :
🎧 Bismillahi rrahmani rrahiim.
🎧 { Ara-aita lladhii yukadhibu biddiini 1 🎧 Fadhaalik'alladhii yadu-ul-yatiima 2 🎧 wala yahudhu alaa twa-aamil-miskiiini 3 🎧 Fawailu llilmuswalliina 4 🎧 Allahdhiina hum an swalaatihim saahuuna 5 🎧 Alladhiina hum yuraa-uuna 6 🎧 Wa yamna-uunal-maa-uuna 7} [Suurat Almaa-uuna :1-7].
Okunnyonnyola:

1. { Ara-aita Alladhii yukadhibu biddiini 1}: Abaffe omanyi oyo alimbisa okusasula empeera ku lunaku lw'e Nkomerero?!
2. {Fadhaalika lladhi yadu-ul-yatiima 2}: Ye y'oyo asindiikiriza ba mulekwa n'obukambe ku byeyeetaaga.
3. {wala yahudhu alaa twa-aamil-miskiini 3}: N'ateekubiriza ate n'atakubiriza balala kuliisa banaku (ba kateyamba).
4. {Fawailu llil-muswalliina 4}: Okuzikirira n'ebibonerezo bya basaaze.
5. {Allahdhiina hum an swalaatihim saahuuna 5} Abo abatafaayo ku sswala zaabwe, nga tebazifaako okutuusa ekiseera kyazo lwe kiggwako.
6. {Alladhiina hum yuraa-uuna 6}: Abo abagenderera kabandabe mu swala zaabwe n'emirimu gyabwe, nga emirimu gyabwe tebagikola ku lwa Allah.
7. {Wa yamna-uunal-maa-uuna 7}: Ne bagaana okuyamba abalala n'ekintu ekitabakosa kuyamba nakyo.

Okwanukula: Suurat Al-kathar n'okuginyonnyola:
🎧 Bismillahi rrahmani rrahiim.
🎧 (Innaa a-atwainaakal-kauthar 1 🎧 Faswalli lirabbika wan-har 2 🎧 inna shaani-aka huwal-abatar 3) [Surat al-kauthar: 1-3].
Okunnyonnyola:

1. ﴾Innaa a-atwainaakal-kauthara 1﴿ Mazima -owange omubaka- twakuwa ebirungi bingi, mubyo mulimu omugga Kauthara oguli mu Jjana.
2. ﴾
Faswalli lirabbika wan-har 2﴿: Tuukiriza okwebaza Allah ku kyengera ekyo, nga osaala kululwe yekka ate osale (ebisolo kululwe) okwawukana n'ekyo abagatta ku Allah kyebakola eky'okusembera eri amasanamu gaabwe nga bayita mu kusala.
3. ﴾Inna shaani-aka huwal-abetar 3﴿ Oyo akukyawa y’oyo asaliddwako ebirungi byonna, oyo eyeerabirwa nga bw’ayogerwako, ayogerwako bubi.

Okwanukula: Suurat Al-kaafiruuna n'okuginnyonnyola :
🎧 Bismillahi rrahmani rrahiim.
🎧 {Qul yaa ayyuhal-kaafiruuna 1 🎧 Laa a-abudu maa ta-abuduuna 2 🎧 Walaa antum aabiduuna maa a-abud 3 🎧 Walaa ana aabidu mmaa abdttum 4 🎧 Walaa antum aabiduuna maa a-abud 5 🎧 Lakum diinukum wa liya diini 6} [Suurat alkaafiruuna: 1-6].
Okunnyonnyola:

1. {Qul yaa ayyuhal-kaafiruuna 1}: Owange ggwe Omubaka- gamba: abange mwe abatakkiriza Allah.
2. {Laa a-abudu maa ta-abuduuna 2}: Sijja kusinza ate sirisinza masannamu mmwe gemusinza.
3. Walaa antum aabiduuna maa a-abudu 3 Era namwe temuli ba kusinza gwensinza, nga ye Allah yekka.
4. {Walaa ana aabidu mmaa abdttum 4}: Era nange siri wa kusinza masannamu mmwe gemusinza
5. {Walaa antum aabiduuna maa a-abudu 5}: Ate nammwe temuli baakusinza nze gwensinza, nga ye Allah yekka.
6. {Lakum diinukum wa liya diini 6}: Mulina eddiini yammwe gyemwagunjawo nage nnina eddiini eyange eyo Allah gyeyanzisaako.

Okwanukula: Suurat an-nasr n'okuginnyonnyola.
🎧 Bismillahi rrahmani rrahiim.
🎧 {Idha jaa-a nasrullaahi wal-fat-hu 1 🎧 Wa ra-aita nnaasa yadekhuluuna fii diinillahi af-waajan 2 🎧 Fasabbih bihamdi Rabbika wastaghfirhu innahuu kaana tawwaaban 3} [Suurat An-nasr: 1-3].
Okunnyonnyola:

1. {Idha jaa-a nasrullaahi wal-fat-hu 1}: Owange gwe Omubaka- bwekulijja okutaasa kwa Allah ediiniyo, n'okugiwa ekitiibwa, n'ekibuga Makka nekiggulwawo.
2. {Wa ra-aita nnaasa yadekhuluuna fii diinillaahi af-waajan 2}: N'olaba abantu nga bayingira mu Busiraamu bibinja na bibinja.
3. {Fasabbih bihamdi Rabbika wastaghfirhu innahuu kaana tawwaaban 3}: Manya nti ako kabonero akalaga okusemberera kw'okumaliriza omulimu gwewatumwa n'okusembera kw'etuuko zo osisinkane omuleziwo, kale beera ng'otendereza amatendo g'omuleziwo, olw'okumwebaza ekyengera ky'okutaasibwa n'okuwangula, era omusabe okusonyiyibwa, mazima ye musonyiyi akkiriza okwenenya kw'abaddube, n'abasonyiwa.

Okwanukula: Suurat Al-masad n'okunyonnyola:
🎧 Bismillahi rrahmaani rrahiim.
🎧 {Tabbat yadaa abi lahabin wa tabba 1 🎧 Maa aghnaa an-hu maaluhu wa maa kasaba 2 🎧 Sayaswlaa naaran dhaata lahabin 3 🎧 Wa-mra-atuhuu hammalatal-hatwabi 4 🎧 Fii jiidihaa habelu mmin masadin 5} [ Al-masad: 1-5].
Okunnyonnyola:

1. {Tabbat yadaa abii lahabin wa tabba 1 Emikono gya taata wa nabbi -Allah Amusseeko okusaasira n'emirembe- omuto Abu Lahabi mutabani wa Abdul Muttwalibi gizikiridde, olw'okufaafaagana kw'emirimu gye, kubanga yalinga akosa Nabbi-Allah amusseeko okusaasira n'emirembe, ate okutaawanakwe kumusaze.
2.{ Maa aghnaa an-hu maaluhu wa maa kasaba 2}
: Eby’obugagga bye n’abaana bye byamugasizza ki? Tebyamuziyiza kubonyaabonyezebwa, era tebyamuleetera kusaasira.
3. {Sayaswlaa naaran dhaata lahabin 3}: Ku lunaku lw’enkomerero, aliyingira mu muliro ogwaka, ng’abonyabonyezebwa ebbugumu lyagwo.
4. {Wa-mra-atuhuu hammalatal-hatwabi 4}: Ne mukyala we, Umm Jamiil, eyali akola obulabe ku Nabbi- okusasira n'emirembe bibere ku yye-, ng'asuula amaggwa mu kkubo, ajja kuguyingira(omuliro)
5. {Fii jiidihaa habelu mmin masadin 5}: Munsingo ye mujja tteekebwamu omuguwa omugumu gw'alitwalibwa nagwo mu muliro.

Okwanukula: Suurat Al-ikhlaasw n'okuginnyonnyola :
🎧 Bismillahi rrahmani rrahiim.
🎧 {Qul huw'Allahu ahad 1 🎧 Allahu swamad 2 🎧 Lam yalide wa lam yuulade 3 🎧 wa lam yakun lahuu kufuwan ahade 4} [Suurat Al-ikhlaasw: 1-4].
Okunnyonnyola:

1. {Qul huw'Allahu ahad 1}: Gamba-owange ggwe Omubaka- nti: Ye Allah, tewali kisinzibwa mu butuufu okujjako Yye.
2- (Allahu swamadu 2): amakulu: ebyeetago by'ebitonde byonna biri eri yye.
3. {Lam yalide wa lam yuulade 3}: Allah talina mwana era talina muzadde.
4- (wa lam yakun lahuu lufuwan ahad 4) Era teriiyo kimwefananyiriza mu bitonde bye.

Okwanukula: Suurat Al-falaq n'okuginnyonnyola :
🎧 Bismillahi rrahmani rrahiim.
🎧 (Qul a-uudhu birabbil-falaq 1 🎧 Min sharri maa khalaqa 2 🎧 wa min sharri ghaasiqin idhaa waqaba 3 🎧 wa min sharri nnaffaathaat fil-uqadi 4 🎧 Wa min sharri haasidin idhaa hasada 5) [Suurat al-falaq: 1-5].
Okunnyonnyola:

1. {Qul a-uudhu birabbil-falaq 1}: Owange ggwe Omubaka- gamba: noonya obuddukiro eri omulezi wa makya, era neewogoma gy'ali (muwanjagira).
2. {Min sharri maa khalaqa 2}: okuva mu bubi bw'ebitonde ebikosa.
3- {wa min sharri ghaasiqin idhaa waqaba 3}: Era neekingiriza ne Allah obubi obweyoleka ekiro nga ebiwuka n'ababbi
4- {wa min sharri nnaffaathaat fil-uqadi 4}: Ate era nennekingiriza naye obubi bw'abakazi abalogo abo abafujjirira ku bifundikwa obulusu lusu.
5- {Wa min sharri haasidin idhaa hasada 5}: Era nennekingiriza naye ku bubi bw’omuntu ow’ensaalwa akyawa abantu ng’abakwatirwa ensaalwa olw’ebyengera Allah by’abawadde, ng’ayagala bibaveeko n’okubatuusaako obulabe.

Okwanukula: Suurat an-naas n'okuginnyonnyola :
🎧 Bismillahi rrahmani rrahiim.
🎧 ﴾Qul a-uudhu birabbi nnaas 1 🎧 Maliki nnaasi 2 🎧 Illaahi nnaasi 3 🎧 min sharril-was-waasil-khannaasi 4 🎧 Alladhii yuwas-wisu fii swuduuri nnaasi 5 Minal-jinnati wannaasi 6) [Suurat An-naas: 1-6].
Okunnyonnyola:

1. {Qul a-uudhu birabbi nnaas 1}: Owange gwe Omubaka- gamba: neekingiriza n'omulezi wa'abantu, ate neewogoma gy'ali.
2- {Maliki nnaasi 2}: Akola mu bbo nga bwaba ayagadde, teri abalinako bufuzi okujjako yye.
3-{Illahi nnaasi 3}: Omusinzibwa waabwe ow'amazima, tebalina asinzibwa mubutuufu atali yye.
4- (min sharril-was-waasi alkhannaasi 4) ku bubi bwa sitaani alabankanya abantu.
5. {Alladhii yuwas-wisu fii swuduuri nnaasi 5}: Eteeka okulabankanya kwayo mu mitima gy'abantu.
6- {Minl-jinnati wannaasi 6) Amakulu: Alabankanya ayinza okuba omuntu oba ejinni.
**********