Ekitundu ky'ebintu eby'enjawulo.

1- Ekikakata.
2-Ekya kyeyagalire.
3- Ekyaziyizibwa.
4- Ekitamwa.
5- Ekikkirizibwa.

1- Ekikakata:
kibeera kya buwaze ng'esswala ettano, okusiiba omwezi gwa ramanzaani, n'okugondera abakadde abibiri.
- Ekikakata: akikoze afuna empeera, ate akirese abonerezebwa.
2- Ekya kyeyagalire: Tekibeera kya tteeka. Nga: Esswala za sunna ezisalibwa n'esswala ez'etteekwa, okuyimirira ekiro, okuliisa emmere, okutoola salam, era kisobola okuyitibwa Sunna oba manduub.
-Akoze ekya sunna afuna empeera ate atakikoze tabonerezebwa.
Kino kikulu:

Kisaana omusiraamu bw'aba awulidde nti kino ekintu kya sunna, akikole era yefananyirize nabbi(okusaasira n'emirembe bibeere ku yye).
3-Ekyaziyizibwa: ky'ekyo ekitekeddwa okulekebwa, nga: Okunywa omwenge, okujemera abakadde, n'okkutulawo oluganda.
Ekyaziyizibwa akirese afuna empeera ate akikoze abonerezebwa.
4- Ekitamwa: Okukireka si kya tteeka, nga: Okukwata n'okuwaayo ng'okozesa kkono, okufunya ku lugoye mu sswala.
Ekitamwa, akirese afuna empeera, ate akikoze tabonerezebwa.
5- Ekikkirizibwa: kibeera kukusalawo wakati w'okuleka n'okukola.
nga:
Okulya ettunda n'okunywa caayi. era kiyitibwa ja-iz oba halaal.
Ekikkirizibwa akikoze tafuna mpeera era akirese tabonerezebwa.

Okwanukula: Ensibuko mu kutunda n’enkolagana endala eri nti bikkirizibwa, okujjako ebika by’ebintu ebimu Allah bye yagaana.
yagamba Allah:
(Allah yakkiriza okutunda n'okugula, ate n'aziyiza riba) [Suurat Al-baqara: 275].

1- Okufera. nga: okukweeka akamogo ke kyamaguzi.
Hadiithi nga eva ku Abu Huraira (Allah amusiime) nti Omubaka wa Allah(okusaasira n'emirembe bibeere ku yye) yayita ku mulengo gw'emmere, nayingizaamu omukono negutoba n'agamba: «kiki kino owange gwe nanyini mmere?» n'agamba: enkuba yagikubye owange gwe omubaka wa Allah. nagamba: «Singa wagitadde waggulu abantu nebasobola okugiraba?» yenna akola obufere ssi wa mukibiina kyange. yayogerwa Muslim.
2- Ribaa: mulimu okujja ku muntu nusu lukumi nga ajja kumuddiza enkumi bbiri.
ekyeyongeddemu ye ribaa eyaziyizibwa. yagamba Allah: (Allah yakkiriza okutunda n'okugula, ate naziyiza ribaa) [Suurat Al-baqara: 275].
3-Okutunda ekitamanyikiddwa: Nga okutunda amata agali mu bbeere ly'embuzi, oba eky'enyanja ekiri mu mazzi nga tekinnavubibwa.
Mu hadiithi:
«Omubaka wa Allah-okusaasira nemirembe bibeere ku yye-yaziyiza okutunda ekitamanyikiddwa » yayogerwa Muslim.

Okwanukula:
1- Ekyengera ky'obusiraamu, era nti toli mubatakkiriza.
2-Ekyengera ky'okubeera kunkola ya Nabbi, era nga toli mu bazuula mu ddiini.
3- Ekyengera ky'obulamu n'okubeera obulungi, nga okuwulira, okulaba, okutambula, n'ebirala.
4- Ekyengera ky'ebyokulya n'okunywa, n'okwambala.
N'ebyengera bya Allah byeyatuwa bingi tebibalika.
yagamba Allah:
(Ne bwe mubala ebyengera bya Katonda temusobola kubikomekkereza, mazima Katonda musonyiyi nnyo musaasizi) [Suurat An-Nahl:18].

okwanukula-
Eky'etteekwa ku byengera ebyo:
kubyebaliza era ekyo kibeerawo nakusuuta Allah, n'okumutendereza n'olulimi, era nti ebirungi byonna bibye. n'okukozesa ebyengera bino mw'ebyo ebisiimisa Allah, wabula ssi kumujeemera.
Allah yagamba:
(N'olw'ekyo munzijukire, Nange Mbajjukire. Munnebazenga era temunngaananga). [Al-baqara: 152].

Okwanukula: Idil-fitir ne idil-adhuha. Olw'ekyo ekyajja mu hadiithi ya Anas(Allah amusiime), yagamba: Omubaka wa Allah(okusasira n'emirembe bibeere ku yye) yagenda e Madiina nga balina ennaku bbiri zebasanyukiramu, n'agamba « nnaku ki zino?», nebamugamba nti: twali tuzisanyukiramu mu biseera nga obusiraamu tebunnajja, Omubaka n'abagamba nti:(Allah abakyusirizzamu ezisinga obulungi: olunaku lwa idil-adhuha, ne iddil-fitir) Yayogerwa Abu Dauda.
Idi endala ezitali ezo ebbiri ziba nzuule.

Okwanukula: Olunaku lwa iddi Al-adh-ha, naye era kigambibwa nti olunaku lwa Arafa.

okwanukula:
Eky'etteeka kukakkanya maaso, Yagamba Allah omugulumivu: (Gamba abakkiriza bakakkanye amaaso gaabwe) [Surat An-nuur:30].

Okwanukula:
1- Omwoyo ogulagira okukola ekibi.
Gutuma omuntu okubeera nga agoberera okwagala kwe mu kujeemera Allah eyayawukana. Yagamba Allah: (mazima omwoyo (gw'omuntu) gulagira nnyo okwonoona, okujjako oyo Mukama omulabirizi wange gw'aba asaasidde anti mazima Mukama omulabirizi wange musonyiyi musaasizi.) [Suurat yusuf:53].
2- Shaitwani(Sitani):
era yye mulabe wa mwana adam, ekigendererwa kye kubuza Muntu n'okumulabankanya mu kukola ebibi, n'okumuyingiza omuliro. Yagamba Allah omugulumivu: (Temugoberera obuufu bwa sitani, mazima yye eri mwe mulabe mweyolefu). [Suurat Al-baqara: 168].
3- Bannannyini bibi: abo abakubiliza abantu okukola ebibi, nebabajja ku birungi. Yagamba Allah omugulumivu: (Ab'emikwano kulunaku olw'enkomerero bajja kubeera balabe na balabe, okujjako abo abatya Allah). [Suurat Az-zukhruf: 67].

Okwanukula:
Okwenenya: kwekuva ku bikolobera n'odda kukugondera Allah. Yagamba Allah omugulumivu: (Era mazima nze ndi musonyiyi, eri oyo eyeenenya n'akola emirimu emirongoofu, oluvannyuma n'alungama) [suurat twaha: 82].

Okwanunuka: 1- Okuva ku kikolobero.
2- Okwekubagiza kulw'ebikolobero ebiyise.
3- Okumalirira obutaddamu kukola kikolobero ekyo.
4- Okuzzaayo ebyalyazamanyizibwa eri bannanyini byo.
yagamba Allah:
(Era abo bwe baba bakoze ebyobuwemu oba nebaba nga beeyisizza bubi (mu ngeri endala) bajjukira Allah nebasaba okusonyiyibwa ebyonoono byabwe ate ani yandisonyiye ebyonoono okujjako Allah! era nebatalemera kw’ebyo byebaakola ate nga nabo bamanyi ekituufu). [Suurat Aal Imraan :135].

Okwanukula: Amakulu ga kyo kwe kusaba Allah okubeera nti Asuuta Nabbi we(okusaasira n'emirembe bibeere ku yye), mu lujjudde lwa ba malayika.

Okwanukula: Okutendereza: kwe kutukuza Allah ku buli bukendevu, obumogo n'ebibi.

Okwanukula: Kwe kutendereza Allah, n'okumutenda na buli kitendo ky'obutuukirivu.

Okwanukula: Kitegeeza nti Allah munene okusinga buli kintu, era wakitibwa, mugulumivu okusinga buli kintu kyonna.

Okwanukula: Tewali nkyukakyuka eri muddu yenna okuva mu mbeera okudda mu ndala, era teri alina maanyi kw'ekyo okujjako Allah.

Okwanukula: Kitegeeza omuddu okusaba Allah amusanguleko ebyonono bye, era amubikkirire obumogo bwe.

Okwanukula:
Okutuuka (okukkirizibwa) kw'ebigambo, emirimu n'enzikiriza, ebyo ebireeta esaanyu ku nsi n'enkomerero.
_Mu hadiithi nga eva ku Mu-aawiya bin Abi Sufiyaani-Allah amusiime- yagamba: yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Allah gw'ayagalizza ebirungi amukenkula mu ddiini» yayogerwa Bukhaari ne Muslim uslim.
Amukenkula:
amakulu nti: Amufuula omumanyi w'amateeka ge ddiini.

Okwanukula: -Lulina okuba nga Lubikka omubiri gwonna.
- Terulina kubaamu bya kwewunda.
-Terulina kuba nga lutangaala.
- Lulina okuba nga lugazi nga ssi lufunda.
-Terulina kubaamu kawoowo konna.
-Terulina kufanagana kyambalo kya basajja.
-Terulina kufanagana kyambalo ky'abakyaala abatali bakkiriza oba aboononefu.
Yagamba Allah:
(Owange ggwe Nnabbi! Gamba bakyala bo ne bawala bo n'abakyala b'abakkiriza beebikkirirenga enkaaya zaabwe (bwe baba nga batambudde okuva mu maka gaabwe). Ekyo kye kisembeza okubamanya (nti baakitiibwa era ba nsa) ne batanakuwazibwa. Ne Allah kuva dda nga musonyiyi, musaasizi. [Al-Ahzab: 59].
Amakulu nga Aya:
Owange gwe Nabbi gamba bakyala bo ne bewala bo n'abakyala ba bakkiriza bateke engoye ku mitwe gyabwe n'ebyenyi byabwe, zibikke ebyenyi byabwe, ebifuba byabwe, n'emitwe gyabwe, ekyo nno, kyekisinga okusembeza okubaawula kubalala, nebatatukibwako kitamwa oba kinyiiza, era yye Allah kuva dda musonyiyi era musasizi, kubanga yabasonyiwa ebyayita, ate era nabasaasira mw'ebyo byeyabannyonnyola eby'akkirizibwa n'ebyaziyizibwa.

Okwanukula: kw'ekugondera Allah n'okulekayo ebikolobero.
yagamba Allah:
(Era mutye Allah, era mukimanye nti Allah ali wamu Nabamutya) [Al-baqara: 194].

Okwanukula: Kwe kukolera ku busiraamu, n'okuleka ebyonono, n'ebikolobero.
yagamba Allah:
(Abange mmwe abakkiriza bwe muba nga mutaasizza eddiini ya Allah, Naye ajja kubataasa era anyweze ebigere byammwe) [Surat Muhammad: 7].
era n'agamba Allah:
(Mazima Allah takyusa ekyo kiri mu bantu okutuusa nga bbo bennyinyi beekyusizza) [Ar-ra-ad: 11].

Okwanukula: Okusaba kye kimu ku bikolwa by'okugondera Katonda ebisinga obunene era kye kimu kubikolwa ebisinga obunene eby’okusembera eri Allah.
yagamba Allah:
Omulezi wammwe yagamba nti: Munsabe nja kubaanukula (okusaba kwamwe): Mazima abo abeekuluntaliza ku kunsinza, bagenda kuyingira omuliro Jahannama nga baswavu. [Ghaafir: 60].
Era Nabbi (okusaasira n'emirembe bibeere ku yye) yagamba: «Okusaba kwe kusinza» Yayogerwa Abu Dauda uda ne Tirmidhi ne ibn Maajah.