Ekitundu kya Hadiithi.
Okwanukula: Hadiithi nga eva ku mukulembeze w'abakkiriza Taata wa hafswa, Umaru mutabani wa khatwab Allah amusiime yagamba: Nawulira omubaka wa Allah okusasira n'emirembe bibeere ku yye ng'aagamba: «Mazima emirimu gibalibwa na kumalirira, era buli muntu afuna ekyo kyamaliridde okukola, Yenna asenguka nga asenguse kudda eri Allah n'omubaka we, aba asenguse kudda eri Allah na mubaka we, era empeera ezo azifuna, ate asenguka nga asenguse kulwa bigendererwa bya nsi era afuna ekyo kyeyasengukira, bw'aba yasenguka kulwa mukyala amuwasa, okusenguka kwe akufunamu ekyo kyeyakugendereramu. Yayogerwa Bukhari ne Muslim.
Eby'okuyiga mu hadiithi:
1- Buli mulimu gwonna guteekeddwa okubaako okumalirira. oba kusaala oba kusiiba oba kulamaga e Makka, n'emirimu egisigadde.
2- Okumalirira kutekeddwa kukolebwa ku lwa Allah.
Okwanukula: Hadiith nga eva ku Mama w'abakkiriza Aisha Allah amusiime yagamba: Yagamba omubaka wa Allah okusasira n'emirembe bibeere ku yye: «Yenna azuula mu ddiini yaffe eno ekitali kya mu yyo, kiba kyakumuddizibwa» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Byetuyiga mu hadiithi:
1- Okuziyiza okuzuula mu ddiini.
2- Emirimu gyonna emizuule giddizibwa nnyini gyo era tegikkirizibwa.
Okwnukula: Hadiithi nga eva ku Umaru bin khatwabi Allah amusiime yagamba: (Lumu bwetwali tutudde ew'omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, yeeyoreka gyetuli omusajja, nga engoye ze njeru nnyo, nga enviri ze nzirugavu nnyo, nga taliiko kabonero ka lugendo konna, era nga muffe tewali amumanyi, okutuusa lweyatula awali Nabbi, n'akonaganya amaviivi ge na maviivi ga Nabbi, era ebibatu bye n'abissa ku bisambi bya Nabbi oluvannyuma n'agamba:« Owange gwe Muhammad, mbuulira ku busiraamu» Nabbi n'amugamba nti: «obusiraamu: kwe kukakasa nti teri asinzibwa mu butuufu bw'okusinzibwa okujjako Allah era ne Muhammad mubaka wa Allah, n'oyimirizaawo esswala, n'otoola ne zaka mu mmali yo, n'osiiba n'omwezi gwa ramadhan, n'okola ne hijja bw'oba nga osobodde» n'amugamba nti:«oyogedde mazima» netumwewunya amubuuza ate namala namukakasa, n'agamba:«mbuulira ku bukkiriza» Nabbi n'amugamba nti:« kwekukkiriza Allah, ne bamalayika be, n'ebitabo bye, n'ababaka be, n'olunaku lw'enkomerero, n'okkiriza okugera kwe, okulungi n'okubi» Namugamba nti:«oyogedde mazima», N'amugamba nti:«mbuulira ku kulongoosa» Nabbi N'amugamba nti:«kwekusinza Allah nga olinga amulaba newankubadde nga tomulaba mazima yye akulaba», Namugamba nti:«mbuulira ku bikwata ku nkomerero», Nabbi n'amuddamu nti:«gwebabuuzizza si y'asinga abuuzizza okumanya ebikwatagana ku yyo », N'amugambi nti:«Mbuulira ku bubonero bwayo», Nabbi n'amugamba nti:«Omuzaana okuzaala mukama we , n'okulaba abantu abatalina ngatto, abatambula obukunya, abalunzi b'embuzi, abaavu lunkupe nga bavuganya mu kusitula ebizimbe», oluvannyuma omusajja n'agenda, newayitawo akaseera katono, oluvannyuma nabbi nagamba:«owange gwe Umaru! omanyi ani abadde abuuza?», nengamba nti: Allah n'omubaka we bebasinga okumanya, Nabbi n'agamba nti«Oyo Jibriilu azze okubayigiriza eddiini yammwe». Yayogerwa Muslimu.
Byetuyiga mu Hadiithi:
1- Hadiithi yayogera empagi z'obusiraamu ettano, era nga ze zino:
-Okukakasa nti teri asinzibwa mu butuufu bw'okusinzibwa okuggyako Allah era ne Muhammad mubaka wa Allah.
-Okuyimirizaawo esswala.
-Okutoola zaka mu mmaali.
-Okusiiba omwezi gwa Ramadhan.
-Okulamaga ku nju ya Allah eyemizizo.
2- Hadiithi yayogera empagi z'obukkiriza, era nga ziri mukaaga:
-Okukkiriza Allah.
-Ne ba malayika be.
-N'ebitabo bye
-N'ababaka be.
-N'olunaku lw'enkomerero.
-N'okugera okulungi n'okubi.
3- Hadiithi yayogera empagi y'okulongoosa, era eri empagi emu, kwekusinza Allah nga olinga amulaba, newankubadde tomulaba naye yye akulaba.
4- Obudde bw'enkomerero teri abumanyi okuggyako Allah.
Okwanukula: Hadiithi nga eva ku abu Huraira Allah amusiime yagamba: yagamba Omubaka wa Allah okusasira n'emirembe bibeere ku yye: «Omukkiriza asinga abakkiriza obujjuvu bw'obukkiriza: y'oyo abasinga empisa» Yayogerwa Tirmidhi era n'agamba nti "Hadiithi nnungi ntuufu".
Byetuyiga mu Hadiithi:
1- Okukubiriza empisa ennungi.
2- Obujjuvu bw'empisa buli mu bujjuvu bw'obukkiriza.
3- Era mazima Obukkiriza bulinnya nebukka.
Okwanukula: Hadiithi nga eva ku Mutabani wa Umaru (Allah abasiime bombi), nti Nabbi(okusasira n'emirembe bibeere ku yye) yagamba: «Yenna alayira ekitali Allah abeera akafuwadde oba aba agasse ku Allah ekintu ekirara». Yayogerwa Tirmidhi.
Byetuyiga mu Hadiithi:
1- Tekikkirizibwa kulayira okujjako nga olayira Allah yekka.
2-Okulayira ekitali Allah kigwa mu kugatta ku Allah okutono.
Okwanukula: Hadiithi nga eva ku Anas(Allah amusiime ) yagamba: yagamba omubaka Wa Allah(okusasira n'emirembe bibeere ku yye): «Tayinza kukkiriza omu mu mmwe okutuusa nga nze gw'asinga okwagala okusinga muzadde we, n'abaana be, n'abantu bonna» Yoyogerwa Bukhaari ne Muslim.
Mw'ebyo byetuyiga mu Hadiithi:
1- kyatteeka okwagala Nabbi(okusasira n'emirembe bibeere ku yye) okusinga abantu bonna.
2- Okwagala Nabbi okusinga abantu bonna kiri mu bujjuvu bw'obukkiriza.
Okwanukula: Hadiithi nga eva ku anas(Allah amusiime ), yagamba omubaka wa Allah(okusasira n'emirembe bibeere ku yye): «Tayinza kukkiriza omu mu mmwe okutuusa nga ayagalizza muganda we ekyo kyeyeeyagaliza» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Mw'ebyo byetuyiga mu Hadiithi:
1- Kikakata ku mukkiriza okwagariza abakkiriza ebirungi nga byeyeeyagaliza.
2-Ekyo kiri mu bujjuvu bwa bukkiriza.
Okwanukula: Hadiithi nga eva ku Abu sa-iidi (Allah amusiime ), nga naye agijja ku Mubaka wa Allah(okusaasira n'emirembe bibeere ku yye) yagamba: «Ndayira oyo alina omwoyo gwange mu mikono gye, mazima yenkana kimu kyakusatu ekya quran» Yayogerwa Bukhaari.
Ebimu ku byetuyiga mu hadiithi.
1- Obulingi bwa Suurat al-ikhlaas.
2- Era suurat al-ikhlas yenkana kimu kyakusatu ekya Quran.
Okwanukula: Hadith nga eva ku Abu Muusaa amusiime, yagamba Omubaka wa Allah(okusaasira n'emirembe bibeere ku yye): «Okugamba nti "Teri alina busobozi yadde amanyi okujjako Allah", kyabugagga mu bookbag by'ejjana». yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Byetuyiga mu hadith:
1- Obulungi bwekigambo ekyo, era kyabugagga mu byobugagga by'ejjana.
2- Okwesamba kw'omuddu obusobozi bwe n'amanyi ge, n'okwesigamira Allah yekka.
Okwanukula: Hadiithi nga eva ku Nu-umaan bin bashiir(Allah amusiime ) yagamba: Nawulira omubaka wa Allah (okusaasira n'emirembe bibeere ku yye) nga agamba: «Mazima ddala mu mubiri mulimu ekinyama, bwekirongooka n'omubiri gwonna gulongooka, ate bwekyonooneka, omubiri gwonna gwonooneka, era nga nakyo(ekinyama) gwe mutima» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Eby'okuyiga mu hadiithi.
1- Okulongooka kw'omutima kulimu okulongooka ku ngulu ne munda.
2- Okufaayo ennyo kukulongooka kw'omutima kubanga mwe muli okulongooka kw'omuntu.
Okwanukula: Hadiithi nga eva ku mu-aadhi bin Jabali (Allah amusiime ) yagamba: yagamba omubaka wa Allah (okusaasira n'emirembe bibeere ku yye)|: «Yenna asembyayo ekigamba Laa Ilaaha illa Allah-nga ava mu nsi- ayingira ejjana» Yayogerwa Abu Dauda.
Eby'okuyiga mu hadiithi.
1- Obulungi bw'ekigambo Laa Ilaaha illa Allah, era omuddu ayingira nakyo ejjana.
2- Enkizo y'omuntu asembezzaayo Laa Ilaaha laaha illa Allah.
Okwanukula: Hadiithi nga eva ku Abdallah bin mas-uud (Allah amusiime ) yagamba: Yagamba Omubaka wa Allah(okusaasira n'emirembe bibeere ku yye): «Omukkiriza tabeera mutyoboozi(muvumi), yadde okubeera omuyitirivu w'okukolima, yadde okubeera omuwemu, yadde okuba nga talina nsonyi» Yayogerwa Tirmidhi.
Eby'okuyiga mu Hadiithi:
1- Okuziyiza buli kigambo kyonna ekitali kituufu oba ekibi
2- Hadiithi eraga ebitendo by'omukkiriza ku lulimi lwe.
Okwanukula: Hadiithi nga eva ku abu huraira(Allah amusiime) yagamba: yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Ebimu ku birungiya obusiramu bw'omuntu: kwe kuleka ebitamukwatako» Yayogerwa Tirmidhi n'abalala.
Mu by'okuyiga mu Hadiithi:
1- Omuntu okuleka ebitamukwatako ku nsonga ze ddiini ya munne n'eby'ensi.
2- Okuleka ebitakukwatako bimu ku bijjuza obusilamu bwomuntu.
Okwanukula: Hadiithi nga eva ku Abdallah bin mas-uud(Allah amusiime) : mazima Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «Yenna asoma ennukuta emu okuva mu kitabo kya Allah, afuna empeera, ate nga empeera emu erimu empeera kkumi ezigifaanana, sigamba nti: Alif laam miimu, nukuta emu, naye Alifu nukuta, ne laamu nukuta, ne miimu nukuta» Yayogerwa Tirmidhi.
Ebimu bye tuyiga mu hadiithi.
1-Obulungi bw'okusoma quran.
2- Buli nukuta gy'osoma ogifunamu empeera.
********