Ekitundu ky'empisa z'obusiraamu.
Okwanukula. 1- Okumugulumiza Allah. Yagamba Allah omugulumivu: (Abakafiiri) tebaagulumiza Allah nga bw'ateekwa okugulumizibwa, nga n'ensi yonna eriba mu kibatu Kye ku Lunaku Lw'enkomerero, nga n'eggulu lizingiddwako n'eddyo We.Yayawukana n'agulumira okwawukana kw'ebyo bye bamugattako. [Az-zumar: 67].
2- Okumunsiza (Allah) yekka nga talina kimwegattako. Yagamba Allah: {Era tebaalagirwa kintu kirala kyonna (kukisinza) wabula basinze Allah oyo ali Omu yekka Omutonzi nga batukuza Eddiini ku Lulwe, (Obutamugatta na kintu kirala kyonna mu kumusinza)}. [ Al-bayyinah: 5].
3- Okumugondera. Yagamba Allah omugulumivu: (Abange mmwe abakkiriza mugondere Allah..) [Suurat Muhammad: 33]
4- Okulekayo okumujeemera. Yagamba Allah: {Yenna ajeeemera Allah n'omubaka we, era n'asukka ensalo za Allah ajja kumuyingiza omuliro agubeeremu lubeerera, era alina ebobonerezo ebikkakkanya} [An-Nisaa: 14].
5- Okumwebaza n'okumutendereza Allah olw'ebilungi bye n'ebyengera bye ebitabalika. Yagamba Allah omugulumivu: (era mwebaze ebyengera bya Allah bwemuba nga yye gwemusinza..) (Suurat An-nahl: 114).
6- Okugumiikiriza n'okugera kwe. Yagamba Allah: {Era mugumiikirize mazima ddala Allah ali wamu n'abaguminkiriza} [Al-anfaal: 46].
Okwanukula: 1- Okumugoberera n'okumwefaanaanyiriza. Yagamba Allah omugulumivu: {Mazima mwalina mmwe mu mubaka wa Allah eky'okugoberera ekirungi kw'oyo abeera nga asuubira (empeera) za Allah (n'okusisinkana) Olunaku Olw'enkomerero, n'ayitiriza okwogera ku Allah} [Al-ahzaab: 21].
2- Okumugondera.
3- Okulekayo okumugyemera. Yagamba Allah owawaggulu: (Omuntu bw'agondera Omubaka aba agondedde Allah: N'oyo akyuka, tetukutumanga ggwe kubeera mukuumi waabwe) [An-nisaa: 80].
4- Okumukakasa mw'ebyo byeyayogera. Yagamba Allah omugulumvu: (Era tayogera nga aggya ku kwagala kwe 3 Tebiri wabula bubaka obumuweerezebwa okuva ewa Allah) [An-najm: 3-4].
5- Obutazuula mu kwongera mu nkola ze. Yagamba okusasira n'emirembe bibeere ku yye: «Yenna azuula mu nsonga yaffe(eddiini) eno ekitali kya mu yyo, kyo kyakumuddizibwa» Yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
6- Okumwagala okusinga n'omuntu bweyeyagala n'okusinga abantu bonna. Yagamba nabbi okusasira n'emirembe bibeere ku yye: «Tayinza kukkiriza omu mu mmwe okutuusa nga nze gw'asinga okwagala okusinga muzadde we, n'abaana be, n'abantu bonna» Yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
7- Okumugulumiza n'okumulwanirira, n'okulwanirira sunna ze. Yagamba Allah: (Mulyoke mukkirize Allah n'omubaka we era mumuwagire era mumugulumize...) [Alfat-hi: 9].
Okwanukula: 1- Okugondera Abakadde ababiri mu bitali kujeemera Allah.
2- Okuwereza Abakadde ababiri.
3_ Okuyambako abakadde ababiri.
4- Okumala ebyetaago by'abakadde ababiri.
5- Okusabira Abakadde ababiri.
6- Okweyisa obulungi nabo mu njogera, nga tekikkirizibwa kubekkaanya n'akagambo "ah", nga nakyo kyekisembayo obutono.
7- Okumwenyeza abakadde ababiri n'obutabasibira mitaafu.
8- Obutasitula doboozi okusukka ery'abazadde, n'okubawuliriza, n'obutabasala kirimi, n'obutabayita mannya gaabwe, wabula ogamba"Taata", "mama".
9- Okubasaba olukusa nga tonnayingira gyebali mu kisenge.
10- Okubanywegera ku mukono n'omutwe.
Yagamba Allah omugulumivu: ﴾Yasalawo Mukama wo nti: Temusinzanga omulala yenna wabula Ye yekka (gwe muba musinza), era n'akubiriza nti n'abazadde bombiriri mubayisenga bulungi. Singa mazima abanga atuusizza obukulu (n'akaddiwa) nga ali w'oli, omu ku bombiriri oba bombiriri tobagambanga (ekigambo) ekibi (eky'okubenyinyala) era tobakaabukiranga, wabula bagambenga kigambo kya kubagulumiza 23 Era obakkakkanyize bombiriri ekiwawaatiro ky'obwetoowaze mu kusaasira. (Betoowalisenga mu bikolwa byo), era ogambe (nga obasabira): Ayi Mukama wange! Basaasire bombiriri nga (nabo) bwe banderanga nga ndi muto."﴿ [Al-Israa: 23-24].
-Mu hadiithi, yajja omusajja eri nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye nga amusaba okugenda mu lutalo lw'eddiini, Nabbi n'amugamba: «Olina abakadde ababiri?» n'amugamba: yye Nabbi n'agamba: «b'oba osaba olyoke ogende mu lutalo» yayogerwa Tirmidhi.
Okwanukula 1- Okulambula ab'enganda abalenzi n'abawala, ba taata abato ne ba ssenga, ba kojja ne ba Maama abato, n'abenganda abasigadde.
2-Okulongoosa gyebali mu njogera n'ebikolwa n'okubayamba.
3- Okubawulizaako, n'okubabuuza embeera zaabwe.
Allah yagamba: "Abaffe olwo musuubirwa nti bwe munaaba mwe muzze ku bukulu (mmwe mufuga) nti mujja kwonoona mu nsi mukutule n'ennganda zammwe?" [Muhammad: 22].
-Ne mu hadith: (Tajja kuyingira Jjana omuntu akutula oluganda). Yayogerwa muslim.
Okwanukula: 1- Njagala era nkwana abantu abalungi.
2- Neesamba era ndekayo okukwana abantu ababi. Mu hadiithi: «Tokwananga okujjako omukkiriza, era talyanga emmere yo okujjako omuntu atya Allah» Yayogerwa Tirmidhi ne Abu Dauda.
3- Ntoolera baganda bange salaamu era nembakwatako ne mu ngalo. Mu hadiithi: «Abasiramu babiri tebayinza kusisinkana, nebakwatagana mu ngalo, okujjako nga Allah abasonyiwa nga tebannayawukana.» Yayogerwa Abu Dauda, ne Tirmidhi.
4- Mbalambulako nga balwadde era nembasabira okuwona.
5- Nsabira abera ayasimudde.
6- Nyanukula omulanga bw'aba ampise okumulambulako. Mu hadiithi: «Obuvunaanyizibwa bw'omusiraamu ku musiraamu munne buli butaano: okuddamu salaamu, okulambula omulwadde, okuwerekera omufu, okwanukula omulanga gwe, n'okusabira ayasimudde» yayogerwa Bukhaari ne Muslim
7- Okumubuulirira. Mu hadiithi: «Yenna awa muganda we endowoza nga akimanyi nti obulungamu(ekituufu) kiri mu nsonga ndala, abeera amukumpanyizza» yayogerwa Abu Dauda.
8- Mmutaasa bw'aba alyazamanyizibbwa, era mmuziyiza okulyazamanya. Yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Taasa muganda wo mulyazamanyi oba alyazamanyizibbwa», omusajja n'agamba nti: owange ggwe Omubaka wa Allah, mmutaasa bw'aba nga alyazamaanyizibbwa, olaba otya ate bw'aba nga y'alyazamanyizza, mmutaasa ntya? Nabbi n'amugamba nti: «Omugaana obulyazamanya; mazima okwo kuba kumutaasa» yayogerwa Bukhaari.
9- Njagaliza muganda wange omusiramu ekyo kyenneyagaliza. Mu hadiithi eva ku Abu Huraira nga agijja ku Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «Tayinza kuba mukkiriza omu mu mmwe okutuusa nga ayagalizza muganda we ekyo kyeyeeyagaliza» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
10- Mmuyambako bw'aba yeetaaze obuyambi bwange. Mu hadiithi: «Allah mu ayamba Omuddu ebbanga lyamala nga ayamba muganda we» yayogerwa Muslim.
11- Simunakuwaza na kigambo oba ekikolwa. Mu hadiithi: (Omusiramu y'oyo abasiramu gwebawona olulimi lwe n'omukono gwe) yayogerwa Bukhar ne Muslim.
12- Nkuuma ekyama kye. Mu hadith: (Omusajja bwanyumiza munne emboozi, oluvanyuma n'akyuuka nga tayagala mboozi ewulirwe balala, emboozi eyo eba efuuse kitereso) Yayogerwa Tirmidhi ne Abu dauda.
13- Simuvuma, era simugeya, era simunyomoola, era simukwatibwa nsaalwa, era simukettereza, era simulimba.
Mu hadiithi: «Omusiraamu muganda wa musiraamu munne, tamulyazaamaanya, era tamulekulira, era tamunyooma, kimala omuntu okuba nga kyakoze kibi okunyooma muganda we omusiraamu» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Okwanukula:
1- Nnongoosa eri mulirwana mu bigambo n'ebikolwa, era nemmuyambako bw'aba yeetaaze obuyambi bwange.
2- Mmuyozaayoza ku yidi oba mu kuwasa oba ekintu ekirara kyonna eky'essanyu.
3- Mmulambula bw'alwaala, era mmukubagiza bw'aba afunye obuzibu.
4- Mmuweereza ku mmere gyemba nfumbye ekiba kisobose.
5- Simukosa nabigambo yadde ebikolwa.
6- Simusumbuwa nga nsitula eddobozi, oba okumuketta, era mmuguminkiriza.
Allah yagamba: «Musinze Allah, era temumugattanga n'ekintu ekirala kyonna; n'eri abazadde bombiriri mulongoose gyebali, ne ku b'oluganda, ne bamulekwa, n'abanaku, n'ab'emirirwano ab'ebbali (be muliraanye amayumba), ne munno ow'ebbali n'omutambuze oyo akutuse ku bantu b'ewaabwe, n'oyo gwe gyafuna emikono gyammwe egya ddyo (abaddu). Mazima Katonda tayagala oyo mwewulize, omwerazi» [Suurat An-Nisaa: 36].
-Era Yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Owange ggwe Abu dharri, bw'oba ofumbye enva yitirizaamu amazzi oweeko ne balirwana» yayogerwa Muslimu.
-Mu hadiithi nga eva ku Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Oyo yenna akkiriza Allah n'olunaku lw'enkomerero, tanyiizanga mulirwana we» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Okwanukula. 1- Nyanukula oyo aba ampise ku bugenyi bwe.
2- Bwemba njagadde okulambula omuntu yenna, mmusaba olukusa n'obudde.
3- Nsaba olukusa nga sinnayingira.
4- Sikeerewa mu kukyala.
5- Nzikakkanya amaaso ku bantu b'ewaka.
6- Nyaniriza omugenyi n'ekyenyi ekisanyufu, n'ebigambo ebyaniriza ebirungi.
7- Omugenyi mmutuuza mu kifo ekisinga obulungi.
8- Mmuwa obugenyi obulungi nga emmere n'ebyokunywa.
Allah yagamba: «Abange mmwe abakkiriza! Temuyingiranga mu nnyumba ezitali zammwe okutuusa lwe mumalanga okusaba okubakkiriza - Ne mulamusa eri bannannyinizo (bwe bakkiriza olwo ne mulyoka muyingira). Ekyo kye kirungi ku mmwe, kyaddaaki ne mujjukira» [Surat An-nuur: 27].
Mu hadiithi: «Mazima Allah yateekawo okusaba olukusa lwa nsonga ya maaso -obutatunula kw'ebyo byegatalina kutunulako-» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
-N'ekigambo kya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Omuntu akkiriza Allah n'olunaku lw'enkomerero, agulumize omugenyi we» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Okwanukula:
1- Bwempulira obulumi, nteeka omukono gwange ogwa ddyo ewannuma, nengamba nti:«Bismillah» emirundi esatu, era nengamba nti:«A-uudhu bi-izzatillahi wa Qudratihi min sharri maa ajidu wa uhaadhiru» emirundi musanvu.
Amakulu nti: Nekingiriza n'ekitibwa kya Allah n'obusobozi bwe ku bubi bw'ekyo ekinnuma, ne kyentya.
2- Nsiima ekyo Allah ky'aba ageze era nengumiikiriza. Mu hadiithi nga eva ku Ummul-alaa yagamba: Yannambula omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye nga ndi mulwadde, n'agamba: «Sanyuka owange ggwe Ummul-alaa, kubanga obulwadde bw'omusiraamu Allah atwala nabwo ebyonoono bye nga omuliro bwegujja ebikyafu ebibeera ku zaabu ne feeza» yayogerwa Abu Dauda.
3- Nnyanguwa okulambula muganda wange omulwadde, era nemusabira, ate era siwanvuya nnyo kutuula waali.
4- Mmusomera ruquya nga takinsabye.
5- Mmulaamira obugumiikiriza n'okusaba, n'okusaala, n'okwetukuza nga bw'asobola
Edduwa y'omulwadde «As-alullaahal-adhwiima rabbal-arshil-adhwiimi an-yashifiyaka » emirundi musanvu. Amakulu: (Nsaba Allah omunene Omuyinza wa namulondo Ennene akuwonye)
Okwanukula:
1- Okutukuza enniya ku lwa Allah. Mu hadiithi: «Oyo yenna anoonya okumanya nga ekigendererwa kye kweragira ku bamanyi, oba kukaayanyizaako abatamanyi, oba okusobola okukyusizaako abantu badde eri yye, Allah ajja kumuyingiza omuliro» Yayogerwa Ibun Maajah.
2- Nkolera ku kumanya kwe njize. Mu hadiithi: «Ebigere by'omuddu tebigenda kuva mu bbaliro ku lunaku lw'enkomerero okutuusa nga abuziddwa ku bintu bina-n'ayogera mu bbyo- ne ku kumanya kwe kiki kyeyakukozesa» Yayogerwa Tirmidhi ne Addaarimi.
3-Omusomesa mmussaamu ekitibwa mu kubeerawo kwe oba mu butabeerawo.
4- Ntuula mumaaso ge mumbeera ey'empisa.
5- Mmuwuliriza bulungi era simusazaamu mu kwogera kwe nga asomesa.
6- Neeyisa bulungi nga mbuuza ekibuuzo.
7- Simuyita linnya lye.
-Mu hadiithi: «Mazima Mukugulumiza Allah mulimu okuwa omukadde omusiraamu ekitibwa, nabwekityo omuntu eyakwata quran» yayogerwa Abu Dauda.
Okwanukula:
1- Nnamusa ku bantu abali mu lukungaana.
2- Ntuula ewasemba, sisitula muntu mu kifo kye, oba okutuula wakati w'ababiri okujjako nga bampadde olukusa.
3- Ngaziya olukungaana bannange basobole okutuula nabo.
4- Sisaza mu mboozi ya bantu mu lukungaana.
5- Nsaba olukusa era nentoola salaamu nga sinnaba kuvaawo mu lukungaana.
Hadiithi nga eva ku mutabani wa Umar Allah abasiime bombi , nga ajja ku nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Nti yagaana omuntu okusitulibwa mu kifo kye newatuuzibwawo omulala, wabula mwefunzemukko ekifo kisobole okugaziwa» yayogerwa Bukhaari.
-Mu hadiithi: «Omu ku mmwe bw'aba atuuse mu lukungaana atoolenga salaamu, era bw'aba ayagadde okuvaawo atoole salaamu, Salaamu ye gyeyatodde mukusooka ssi y'esinga eyo esembayo nga agenda» Yayogerwa Tirmidhi ne Abu Dauda.
6- Bwekuba nga olutuula luwedde nsaba edduwa y'okusonyiyibwa kw'olutuula era nga y'eno: «Subhanaka Allahumma wa bihamdika, Ash-hadu Allaa ilaaha illa anta astaghfiruka wa atuubu ilaika»
Amakulu: Wayawukana Ayi Allah n'amatendo go, nkakasa nti teri asinzibwa mu butuufu bwakusinzibwa okujjako ggwe, nkusaba onsonyiwe, era nkwenenyeza.
Neebaka nga bukyaali olwa hadiithi: «Nga eva ku Abu Barzah nti Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yatamwanga okwebaka nga esswala ya isha tennatuuka, n'okunyumya oluvannyuma lwa yo» yayogerwa Bukhaari.
2- Neebaka ndi mutukuvu.
3- Sseebaka nga neevuunise ku lubuto lwange.
4- Nneebakira ku ludda lwange olwa ddyo, era omukono gwange ogwa ddyo nengussa wansi w'oluba lwange olwa ddyo.
5- Nkunkumula obuliri bwange.
Mu hadiithi: nga eva ku Barbara ibun Aazib-Allah amusiime- yagamba: yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibere ku yye: «Bw'obanga ogenda okwebaka, funa wudhu yo nga ey'esswala, oluvannyuma weebakire ku ludda lwo olwa ddyo» yayogerwa Bukhaari.
-Hadiithi nga eva ku Abu Hurairah Allah amusiime yagamba: Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bieere ku yye yalaba omusajja nga yeebase yeevuunise n'agamba: «Mazima ddala eno enneebaka, Allah tagyagala». yayogerwa Tirmidhi ne Ahmad.
-Era Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «Omu mu mmwe bwabanga agenda okwebaka, akunkumule obuliri bwe nga akozesa munda we nkutu ye; kubanga mazima ddala yye tamanyi kiki kyazzeemu oluvanyuma lwe» yayogerwa Bukhaari.
6- Nsoma adhikaari z'okwebaka, gamba nga Aayatul-kursiyy, Suurat Al-ikhlaas, suurat alfalaq ne Suurat An-naas emirundi esatu esatu, oluvannyuma nengamba nti: «Bi-ismika Allahumma Amuutu wa ahyaa».
Amakulu nti: ku erinya lyo Ayi Allah kwenfiira era kwempangalira.
7- Ngolokoka okusaala swala ya fajir.
8- Era nengamba oluvannyuma lw'okugolokoka mu tulo: «Alhamdulillahi Alladhii ahyaanaa ba-ada maa amaatanaa wa ilaihi-nnushuur»
Okwanukula:1
okunywa kwange n'okulya kwange mbigendereramu okufuna amaanyi ku kugondera Allah .
2. okunaaba engalo nga ssinnaba kulya.
olwa hadiithi ya mama w'abakkiriza Aisha- Allah amusiime- Omubaka wa Allah okusasira n'emirembe bibere ku yye yalinga: «Bweyayagalanga okulya n'okunywa, yanaabanga engalo ze oluvannyuma n'alya era n'anywa» yayogerwa Ahmad.
3. Ngamba nti: «Bismillah», era ndya n'omukono gwange ogwa ddyo, era nendya ekyo ekindi mumaaso, era silya wakati mu mmere oba okulya ekiri mumaaso g'omulala.
olwa hadiithi: «Owange ggwe Muvubuka, soma erinnya lya Allah nga ogenda okulya, era oliise n'omukono gwo ogwa ddyo, era olye n'ekyo ekikuli mu maaso go» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
4. bwemba neerabidde okusoma «Bismillah» ngamba nti Bismillahi ahahaha wa Aakhirahu.
olwa hadiithi ya mama w'abakkiriza-Allah amusiime- yagamba: yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Omu mu mmwe bw'abanga agenda okulya emmere, agambe nti: BISMILLAH, bweyeelabira okukyogera ku ntandikwa, agambe: BISMILLAHI AWWALAHU WA AKHIRAHU» yayogerwa Tirmidhi ne Ahmad.
nsiima n'emmere eriwo, era sivuma mmere, bwemba ngyagadde ngirya, era bwemba sigyagadde ngireka.
- olwa hadiithi ya Abu Huraira - Allah amusiime - yagamba: «Nabbi-okusaasira n'emirembe bibeere ku yye-teyavuma ku mmere yadde, bweyagyagalanga
nga alya, naye ekitari ekyo nga agireka» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
6. Ndyaako katono, era silya nnyo.
- mu hadiithi: «Omwana Adaamu tayinza kujjuza kyombo nga bibi okusinga olubuto, omuntu kimumalira okulyayo endya ezimusobozesa okubeerawo, bwekiba nga tekisoboka kwewalika, kale olubuto alwawuzeemu emirundi esatu, kimu kyakusatu kya mmere, kimu kyakusatu kya byakunywa, kimu kyakusatu wassiza» Yayogerwa Tirmidhi ne ibun Maajah.
7. Sifuuwa mu mmere oba eky'okunywa, mbireka nebiwola.
Mu hadiithi: «Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yaziyiza okufuuwa mu by'okulya n'ebyokunywa» Yayogerwa Ahmad ne Ibun Maajah.
8. Nkungaana ne bannange wamu n'aba family oba abagenyi.
- Hadiithi y'omusajja eyagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: ffe tulya naye tetukkuta, n'agamba: «Kirabika temuliira wamu, mukungaane ku mmere yammwe, musome erinnya lya Allah nga mugenda okulya, ajja kugibateeramu omukisa» Yayogerwa Abu Dauda ne Ibun Maajah.
9- Sitandika kulya nga abakulu abansingako tebannatandika.
10. Nsoma erinnya lya Allah, nennywa nga ntudde ennwa ssatu, era sissiza mu kyombo.
- Olwa hadiithi: «Bw'abanga anywa omu ku mmwe, tassizanga mu kyombo» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
-N'olwa hadiithi ya Anas Allah amusiime, «Mazima Nabbi-okusaasira n'emirembe bibeere ku yye- yagaana okunywa ng'oyimiridde» yayogerwa Muslim.
-N'olwa hadiithi: «Omubaka wa Allah-okusaasira n'emirembe bibeere ku yye- yassanga emirundi esatu nga anywa» Amakulu nti ekyokunywa yakinywangamu ennywa ssatu nga buli lunywa assiza wabweeru w'ekyombo. yayogerwa Muslim.
11. Neebaza Allah wembanga mmalirizza okulya emmere oba okunywa:
- Mu hadiithi: «Mazima Allah asiima omuddu bw'aba alidde olulya n'amutendereze , oba anywedde olunywa n'amutendereza ku lw'ekyo» yayogerwa Muslim.
okwanukula:1
ntandika n'oludda olwa ddyo nga nnyambala olugoye, era n'entendereza Allah kw'ekyo.
- Olwa hadiithi ya Abu Huraira- Allah amusiime yagamba: yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Bwemubanga mwambala, era bwemubanga mufuna wudhu mutandike n'enzida zammwe eza ddyo» yayogera Abu Dauda Ne Ahmad.
2- siwanvuya ngoye kusukka bukongovule.
- Mu hadiithi: «Kyonna ekisukka obukongovule ku nkutu kya mu muliro» yayogerwa Bukhaari. Obukongovule g'emagumba agayitamu ku bigere
3. Abalenzi tebambala ngoye za bawala, yadde abawala okwambala ez'abalenzi.
Mu hadiithi «Omubaka wa Allah-okusaasira n'emirembe bibeere ku yye- yakolimira omusajja ayambala ekyambalo ky'ekikyala, n'omukyala ayambala ekyambalo ky'ekisajja» yayogerwa Abu Dauda Ne Ahmad.
4. Obuteefaanaanyiriza byambalo bya bakaafiiri (abajeemu) oba aboonoonefu.
Olwa hadiithi: «Yenna eyefaanaanyiriza ekibinja kya bantu abeera wa mu kyo» yayogerwa Abu Dauda.
5. Okusoma «bismillah» mukaseera k'okujjamu engoye.
Mu hadiithi: Ekiziyiza wakati w'obwerere bw'abantu n'amajinni singa omu mu mmwe aba ajjamu engoye ze kwe kugamba nti BISMILLAH» yayogerwa Attwabaraani ne Ibun Abii Shaibah.
6. Okwambala engatto ng'osooka n'ekigere kya ddyo, n'okujjamu nga osooka n'ekigere kya kkono.
Olwa hadiithi ya mama wa bakkiriza Aisha- Allah amusiime: «Nabbi yayagalanga nnyo okutandisa ddyo nga ayambala engatto, n'okusaanirira enviiri, n'okwetukuza, ne munsonga ze zonna» yayogerwa Bukhaari.
Okwanukula:
1: Nenkanankana era nenneetoowaaza mu ntambula yange. Allah yagamba: «Totambulanga mu nsi nga weeraga, mazima ggwe togenda kwabya ttaka era togenda kwenkana nsozi buwanvu» [Al-Israa: 37].
2-Ntoolera gwemba nsanze salaam.
Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye
Yabuuzibwa : busiraamu ki obusinga obulungi? n'agamba: «Oliisa emmere, n'otoolera salam gw'omanyi ne gw'otamanyi» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
3- Nzikakkanya amaaso gange, nessinyiza muntu yenna.
4. Ndagira ekirungi, nenziyiza ekibi. Mu hadiithi eva ku Nabbi-okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «Ekkubo muliwe omugabo gwalyo, baagamba: omugabo gwe kkubo gwe guliwa?, n'agamba: okukakkanya amaaso, n'okuleka ebikosa , n'okuddamu salaamu, n'okulagira empisa ennungi, n'okuziyiza empisa embi» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
5. Nzijawo ebikosa mu kkubo.
Mu hadiithi: «N'okujja ekikosa mu kkubo ebeera saadaaka» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Okwanukula: 1: Nfuluma n'okugulu okwa kkono, nengamba: «BISMILLAAHI TAWAKKALTU ALA ALLAHI LAA HAULA WA LAA QUWWATA ILLA BILLAHI, ALLAHUMMA INNI AUDHU BIKA AN ADHWILLA AW UDHWALLA AW AZILLA AW UZALLA AW ADHLIMA AW UDHLAMA AW AJHALA AW YUJHALA ALAYYA»
2- Nnyingira enju n'okugulu kwa ddyo, era nengamba: «BISMILLAAHI WALAJNAA WA BISMILLAAHI KHARAJNA WA ALA RABBINAA TAWAKKALNAA».
3. Ntandika n'okusenya n'oluvannyuma nentoorera ku b'ewaka salaamu.
Mu haditihi: «Bweyayingiranga ewaka yasookanga na kusenya» Yayogerwa Ibun Maajah.
Okwanukula: 1-Nnyingira n'okugulu kwange okwa kkono.
2- Nengamba nga sinnayingira: «BISMILLAAHI
ALLAHUMMA INNII A-UUDHU BIKA MINAL-KHUBUTHI WAL-KAHBAA-ITHI»
3- Siyingiza kintu kyonna nga kiriko ebigambo ebyogera ku Allah.
-Hadiithi nga eva ku Anasi Allah amusiime yagamba: «Nabbi-okusaasira n'emirembe bibeere ku yye- bweyali nga agenda okuyingira kabuyonjo, yajjangako empeta ye» Yayogerwa Abu Dauda ne Ibun Maajah.
4. Nekweeka nga mmala ekyeetaago.
Mu hadiithi: «N'ekintu Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye kyeyali asinga okwagala okwekwekamu nga amala ekyetaago kifo kisitufu oba ennimiro y'entende» yayogerwa Muslim.
5- Siyogerera mu kifo wamalirwa kyetaago.
6. Siyolekera kibula, yadde okukikuba amabega nga mmala ekyeetaago.
olw'ekigamba kya Nabbi- okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Temwolekeranga kibula nga mumala ekyetaago ekinene oba ekitono, wabula mwolekere obuva njuba oba obugwa njuba» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
7. Nkozesa omukono gwange ogwa kkono mu kwejjako ebucaafu, era sikozesa gwa ddyo.
-Olwa hadiithi: «Nabbi yatugaana .. okutawaaza n'omukono ogwa ddyo» yayogerwa Muslim.
8. Simala kyetaago kyange mu kkubo lya bantu yadde ekisiikirize kyabwe.
-Olwa hadiithi ya Abu Huraira- Allah amusiime- mazima Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba: «Mutye nnyo ebikolwa bibiri ebikolimizisa omuntu» Nebamugamba: Byebiriwa ebikolwa ebyo ebibiri owaffe ggwe omubaka wa Allah? n'abagamba nti:«oyo amala ekyetaago mu kkubo ly'abantu oba mu kisikirize kya bwe» yayogerwa Muslim.
9. Nnaaba emikono gyange nga mmalirizza ekyetaago. Olwa hadiithi ya Jariir-Allah amusiime-yagamba: nali ne Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, N'agenda mu kaabuyonjo n'amala ekyeetago oluvannyuma n'agamba: «owange ggwe Jariir leeta amazzi amayonjo», nemmuletera amazzi, n'atawaaza n'amazzi ago, nakuuta omukono gwe ku ttaka. Yayogerwa Nasaa-i.
10- Nfuluma n'okugulu kwange okwa ddyo era nengamba nti:«GUFRAANAKA»
Okwanukula: 1.Nnyingiza okugulu kwange okwa ddyo, nengamba: «BISMILLAAHI, ALLAHUMMA IFTAH LII AB-WAABA RAHMATIKA»
2. Situula nga sinnasaala raaka bbiri.
- Olwa haditihi: «Bw'abanga ayingidde omu mu mmwe omuzikiti, tatuulanga okutuusa nga asadde eraaka bbiri» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
3. siyita mu maaso g'asaala, oba okulangirira ekibuze mumuzikiti, oba okutunda oba okugulira mu muzikiti. Yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Singa yali amanyi omuntu ayita mu maaso g'omusaze musango ki gw'aba alina, kyandibadde kirungi okuyimirira amakumi ana okusinga okuyita mu maaso ge» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
-N'ekigambo ky'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Yenna awuliranga omuntu nga alanga ekintu kye ekimubuzeeko mu muzikiti, amugambenga nti Allah takikuddiza; kubanga emizikiti tegyazimbibwa lw'ekyo» yayogerwa Muslim.
-Ne mu hadiithi: «Bwemulabanga atundira oba agulira mu muzikiti, mumugambe nti: Allah takuteera amagoba mu busuubuzi bwo» Yayogerwa Tirmidhi ne Addaarimi.
4. Nfaayo nnyo kubuyonjo bw'omuzikiti.
-Mu hadiithi nga eva ku mama wa bakkiriza Aisha-Allah amusiime- yagamba: «Yalagira Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye okuzimba emizikiti mu bifo ewasulwa abantu, era n'alagira n'okugirongoosa n'okugissaamu obuwoowo» Yayogerwa Tirmidhi ne Abu Dauda ne Ahmad.
5- Nfuluma mu muzikiti n'okugulu kwange okwa kkono, era nengamba: «ALLAHUMMA INNII AS-ALUKA MIN FADHULIKA».
Okwanukula:
1- Bwemba nsanze omusiraamu ntandika nakumutoolera salaamu, nga ngamba nti:«ASSALAAMU ALAIKUM WA RAHMATULLAHI WA BARAKAATUHU», Wabula sitandika na kitali salaamu, era ssiraza namukono gwange gwokka.
2- Gwentolera salaamu mmumwenyeza. Mu hadiithi: «Tonyomanga kintu kyonna nga kirungi, nebwekuba kusisinkana muganda wo n'ekyenyi nga kisanyufu» yayogerwa Muslim.
3- Era mmukwata mu ngalo n'omukono gwange ogwa ddyo.
4- Omuntu bw'aba anamusizza (antooledde ssalaamu), mmuddamu n'ekiramuso ekisinga ku kikye obulungi, oba nemuddamu n'ekifaananako n'ekyo kyannamusizza nakyo.
Olw'ekigambo kya Allah: {Bwe muba nga mulamusiddwa n'ekiramuso, mulamuse (muddengamu) n'ekisingako obulungi oba mugiddemu (Ssalaamu yo yennyini efaanana eyo). Mazima Allah Mubazi ku buli kintu.} [An-nisaa: 86].
5- Atali musiraamu simutandika nakumutoolera salaamu, ate bw'aba yye antoledde mmuddamu nti “WA ALAIKUM”.
- Olwa hadiithi: «Temutandika ba yudaya wadde abakurisitaayo ne ssalaamu» yayogerwa Muslim.
6- Omuto atoolera omukulu salaamu, eyeebagadde atoolera atambula, atambula atoolera atudde, abatono batoolera abangi. Yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Ayebagadde atoolera atambula salaamu, atambula n'atoolera atudde, abatono nebatoolera abangi» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
7. Obutakwata mukyala atakuzira mu ngalo.
-Mu hadiithi nga eva ku mama wa bakkiriza Aisha-Allah amusiime- yagamba: «Nedda ndayira Allah, omukono gwa Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye tegwakwatako mukono gwa mukyala yenna » yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
Okwanukula: 1: Nga sinnayingira mu kifo nsooka kusaba lukusa.
Nsaba olukusa emirundi esatu songerako, era oluvannyuma lwa gyo nengenda.
Mu hadiithi: «Bw'asabanga omu ku mmwe olukusa emirundi esatu nebatamukkiriza addeyo» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
3- Nkonkona ku luggi mpola mpola, era siyimirira wakati, wabula ku ddyo oba ku kkono w'oluggi. nengamba nti: Assalaamu alaikum. Olwa hadiithi: «Nabbi-okusaasira n'emirembe bibeere ku yye- bweyajjanga ku mulyango gw'abantu, teyayolekeranga mulyango mumaaso ga gwo gwennyini, wabula ku ddyo oba ku kkono, era n'agamba nti: ASSALAAMU ALAIKUM, ASSALAAMU ALAIKUM» yayogerwa Abu Dauda.
4- Siyingira eri bakadde bange oba mu kisenge kyonna nga sisabye lukusa, n'okusingira ddala oluvannyuma lw'esswala ya subuhi, n'oluvannyuma lwa dhuhuri, n'oluvannyuma lwa ishaa.
Olw'ekigambo kya Allah: {Abange mmwe abakkiriza! Bateekwa babasabe okubakkiriza nga baagala okuyingira (gye muli) abo be gyafuna emikono gyammwe egya ddyo (abaddu oba abaweereza) era n'abo abatannatuusa kiseera kya bukulu mu mmwe (abaana), emirundi esatu (mu biseera bisatu): oluberyeberye lw'esswala y'okumakya (Al-Fajiri), ne mu kiseera we muggiramu engoye za mmwe mu ttuntu (nga muli mu ggandaalo) n'oluvannyuma lw'eswala y'ekiro (Isha)- by'ebiseera bya mmwe ebisatu mwe mweyambulira. temulina kibi yadde bo oluvannyuma lw'ebyo (ebiseera ebisatu), okuyingira nga tebabeeyanjulidde, beetooloola abamu ku mmwe ku bannabwe. Bwe kityo Allah bw'abannyonnyola obubonero Bwe. Ne Allah Mumanyi, Mukakasa} [An-nuur: 58].
5- Nsobola okuyingira mu bifo ebitasulwamu nga sisabye lukusa. okugeza nga: Amalwaliro, oba amaduuka.
-yagamba Allah: {Temulina kibi mmwe okuyingira (nga temusabye) mu mayumba agatasulwamu nga mulimu ebintu byammwe (Eby'emiganyulo). Ne Allah Amanyi ebyo bye mwolesa n'ebyo bye mukweka} [ An-nuur: 29]
Okwanukula: 1
Ndiisa era nennywesa ebisolo.
Mu hadiithi: «Baagamba nti: Owaffe ggwe omubaka wa Allah, ensolo nazo tuzifunamu empeera nga tuziyisizza bulungi? n'agamba nti: buli kirina ekibumba kirimu empeera» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
-Era lumu Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yayita ku ngamiya nga omugongo gwayo gukonaganye n'olubuto lwayo n'agamba: «Mutye Allah mu nsolo zino» yayogerwa Abu Dauda.
okubisaasira n'obutakitikka byekitasobola.
Mu hadiithi: yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Ani nannyini ngamiya eno? Engamiya eno y'ani?. Omuvubuka okuva mu ba Answar najja, n'agamba: yange owange ggwe omubaka wa Allah, Nabbi n'agamba: nti totya Allah ku kisolo kino kyeyakuwa; mazima ddala yemulugunyizza gyendi nti ogilumya enjala era ogikozesa emirimu mingi n'ogikooya» yayogera Abu Dauda Ne Ahmad. Ogikooya.
Sibonereza kisolo nakibonerezo kyonna yadde okukikosa.
mu Hadiith nga eva ku Jaabir-Allah amusiime, mazima Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yamuyitako lumu n'endogoyi nga baagiteekamu enjokyo mu kyenyi kyayo, n'agamba: «Tekyabatuukako nti nakolimira omuntu ateeka enjokyo mu kyenyi ky'ensolo oba agikuba mu kyenyi?» ekyo Nabbi n'akiziyiza. yayogerwa Muslim ne Abu Dauda.
Okwanukula: 1- Mu byemizannyo ngendereramu kufuna amaanyi nsobole okugondera Allah n'okumsiimya.
2. Tetuzannya mu kiseera ky'eswala.
yagamba Allah: {Okubonaabona kuli kw'abo abasaala* abo abalagajjalira esswala zaabwe} [Al-maa-uun: 4-5].
3- Abalenzi tebazannya nabawala.
4- Neekuumira ku kyambalo ky'eby'emizannyo ekyo ekibikka obwerere bwange.
5- Neesamba emizannyo egyaziyizibwa, nga egyo egirimu okukuba mu kyenyi, n'okubikkula obwerere.
Mu hadiithi: «Omu ku mmwe bw'abanga alwanaganye ne munne, yeesambenga okukuba mu kyenyi» yayogerwa Muslim.
Okwanukula: 1.Okwogera amazima mu kusaaga, n'obutalimba.
Mu hadiithi: «Okubonaabona kuli kw'oyo anyumya n'alimba asobole okusesa abantu, okubonaabona kuli ku yye, okubonabona kuli ku yye» yayogerwa Abu dauda, Ne Ahmad, ne Tirmidhi.
2. Okusaaga okutaliimu kujerega yadde okujeeja yadde okunakuwaza.
-Yagamba Nabbi okusasira n'emirembe bibeere ku yye: «Tekikkirizibwa ku musiraamu yenna kutiisatiisa musiraamu munne» yayogera Abu dauda Ne Ahmad.
3- Obutayitiriza nnyo kusaaga.
-Yagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Era toyitiriza nnyo kuseka; mazima ddala okuyitiriza okuseka kutta omutima» Yayogerwa Tirmidhi ne Ibun Maajah.
Okwanukula: 1- Okuteeka omukono, oba akatambaala ku nnyindo nga ogenda okwasimula.
2-Okutendereza Allah oluvannyuma lw'okwasimula.
«ALHAMDU LILLAH»
3- Muganda we oba munne amuwulidde amugamba nti : «YARHAMUKA ALLAHU» amakulu: Allah akusaasire.
-Bw'aba akimugambye amuddemu nti:
«YAHDIIKUM ALLAHU WA YUSLIH BAALAKUM » amakulu: Allah abalungamye era abatereereze embeera ya mmwe.
okwanukula: 1
okugezaako okuziyiza okwayuuya.
Mu hadiithi: «Okwayuuya kuva eri sitaani, bw'abanga agenda okwayuuya omu ku mmwe akiziyize nga bw'asobola» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
2. Obutasitula doboozi nti «aah aah»
Mu hadiithi: «Era tagambanga nti: aah aah, kubanga omu ku mmwe bwaggulawo omumwa gwe sitaani emusekerera» yayogerwa Ahmad.
3-Okuteeka omukono ku mumwa.
Mu hadiithi: «Bw'abanga agenda okwayuuya omu ku mmwe akwatenga ku mumwa, kubanga sitaani eyingira» yayogerwa Muslim.
Okwanukula: 1- Okusoma nga oli mutukuvu oluvannyuma lw'okufuna wudhu.
2- Okutuula mu mpisa n'obukakkamu.
3- Nsaba Allah ankingirize shaitwan ku ntandikwa y'okusoma.
Yagamba omugulumivu: {Bw'oba nga ogenda kusoma Kuraane, weekingirizenga ne Katonda (akukuume) ku sitaane eyagobwa (ku kusaasira Kwe} [Suurat An-nahl: 98].
4. Nfumintiriza nga nsoma.
yagamba Allah omgulumivu: {Abaffe tebetegereza Kur’ani, oba emitima gyegiriko ekkufulu zaagyo} [Muhammad: 24].
*******
Okwanukula: 1- Okutandika n'okutenda Allah n'okumusuuta.
Okusaalira Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye.
Mu hadiithi okuva ku nabbi okusasira n'emirembe bibere ku yye: «Bw'omalanga okusaala n'otuula, tendereza Allah n'amatendo ge agamusaana, bw'omala onsaalire, oluvannyuma musabe» Yayogerwa Tirmidhi.
3- Okuwanika emikono mu kusaba.
-Yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Mazima ddala omulezi wammwe omugulumivu wa nsonyi ate mugabi, akwatibwa omuddu we ensonyi bw'aba awanise emikono gye gy'ali okugizzaayo nga temuli kirimu» Yayogerwa Tirmidhi ne Abu Dauda.
4. okwenenya n'okukkiriza ekyonoono.
Mu duwa ya Muusa emirembe gibeere ku yye: {Yagamba nti: Mukama wange! Mazima nze ndyazaamaanyizza omwoyo gwange, (wabula) nsonyiwa! Ne (Allah), n'amusonyiwa. Mazima Ye ye Musonyiyi, Omusaasizi} [Al-qasas: 16].
5- Okulemerako mu kusaba. amakulu nti okuyitiriza okusaba n'okukuddingana.
6- Obutapapiriza kwagala kwanukulwa.
7. Tosaba kyonoono yadde okukutula oluganda.
Mu hadiithi: «Omuddu aja kusigala nga ayanukulwa ebbanga ly'amala nga tasabye kyonoono oba okukutula oluganda, n'ebbanga ly'amala nga tapapye. Nebagamba nti owaffe ggwe omubaka wa Allah, okupapa kye kki? n'agamba nti: agamba nti: nsabye n'ensaba, naye siraba bwanyanukula n'akoowa, n'alekayo n'okusaba» yayogerwa Bukhaari ne Muslim.
8- Okukkakkanya eddobozi mu kusaba.
yagamba Allah: {Musabe omulezi wammwe mu bukkakkamu ne mu kyama} [Al-a-araaf: 55].
9. Okuteekayo obirowoozo(omutima) mu kaseera k'okusaba.
Mu hadiithi: «Musabe Allah nga mukakasa nti ajja kubaanukula, era mukimanye nti Allah tayanukula duwa ya muntu nga omutima gwe mugayaavu tegwefiirayo» Yayogerwa Tirmidhi.
10- Okwewayo eri Allah n'okusaba Allah yyekka mu buzibu ne mu ssanyu.
- Yagamba Allah: {Era mazima emizikiti gyonna gya Allah Kale temusinzanga awamu ne Allah ekintu ekirala kyonna nga mukimugattako} [Al-jinni: 18].
okusembera eri Allah nga okozesa amannya ge amalungi n'ebitendo bye.
- Allah yagamba: {Ne Allah alina amannya amalungi, kale mugamusabise } [Al-a-araaf: 180].
12- okwolekera ekibula. mu hadiithi: «Yasigala nga asaba omulezi we, nga awanise emikono gye, nga ayolekedde ekibula, okutuusa essuuka ye lweyagwa okuva ku bibegaabega bye» yayogerwa Muslim.
13. okulya n'okwambala obirungi (ebikkirizibwa). Mu hadiithi: «Oluvannyuma n'ayogera ku musajja, eyatambula olugendo nga luwanvu, nga yenna agubasidde awanyise emikono gye waggulu: agamba ayi omulezi wange, ayi omulezi wange, naye nga eby'okulya bye bya haraam, n'eby'okunywa bye bya haraam, n'ebyambalo bye bya haraam, nga yakuzibwa ku haraam, oyo ayinza atya okwanukulwa» yayogerwa Muslim.